Omwezi guwenze mulamba okuva omwana Mercy Athieno aweza emyaka 10 abula okuva mu maka ga bazaddebe e Mukono.
Athieno nga tawulira era tayogera azaalibwa Moses Olwenyi ne Prossy Awori ababeera okumpi ne kkooti y’e Mukono.
Dorah Najjuma akola ku nsonga z’abaana ku disitulikiti y’e Mukono agamba nti Athieno yabula nga February 3, 2024.
Olwenyi agamba nti baggulawo omusango gw’okubula kw’omwana ku poliisi e Mukono ku ffayiro nnamba CRB 169/2024 wabula nga n’okutuusa olwaleero omwana ono talabikangako wadde okufuna obubaka ng’eriyo eyamulabako.
Ono agamba nti muwalawe yabula okuva ewaka nga February 3, 2024 nga kati guweze omwezi mulamba tebamanyi bimufaako.
Olwenyi agamba nti baagenda ne mu woofiisi evunaanyizibwa ku nsonga z’abaana ku disitulikiti ne beekubira enduulu okulaba nga bayambibwa okuzuula omwana waabwe ssaako okutambula kyalo ku kyalo nga bwe banaanonya nga bakozesa n’ebizindaalo naye kaweefube ono tannavaamu kalamu.
Oyo alaba ku mwana ono, oba amanyi ebimukwatako asabiddwa okukuba ku nnamba y’essimu 0781-828627 ne 0708-609318 oba ogende ku poliisi ekuli okumpi.