Bya Wilberforce Kawere
Omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo acoomedde abakulembeze n’abaddukanya disitulikiti y’e Mukono olw’okulemererwa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe.
Omulabirizi Kagodo abadde ku kitebe kya disitulikiti nga yeetebye mu kulonda olukiiko oluteekateekera n’okukulaakulanya disitulikiti olumanyiddwa nga Mukono Development Forum (MDF), n’agamba nti ekitundu kino n’okusingira ddala ekibuga Mukono kikyali mabega nnyo mu by’enkulaakulana bw’ogeraageranya ne mmunisipaali endala mu bitundu eby’eggwanga eby’enjawulo.
“Mulabe mmunisipaali nga Lugazi, Kira n’endala eziri obulungi ennyo era ezirimu enkulaakulana ezitamanyi Mukono eyandibadde jjajja waazo. Abakulembeze baffe e Mukono mmwe muli ku ki?” Omulabirizi bw’abuuzizza.
Ono anokoddeyo amakubo g’agambye nti gali mu mbeera mbi nnyo kyokka ng’abakulembeze batunula butunuzi.
Kagodo akuutidde olukiiko olulondeddwa okuteekateekera n’okulaakulanya disitulikiti okusomesa bannamukono omwoyo gwa bulungibwansi n’okukola ennyo balwanyise obwavu.
Global Junior School Ushers Kids into New Year in Style While Unveiling New Campus
Olukiiko olulondeddwa okulakulanya n’okuteekateekera disitulikiti lutuulako abakiise b’abantu okuli abasuubuzi, abagoba ba bodaboda, bannamawulire, abaliko obulemu, abavubuka, ab’enzikiriza z’eddiini ez’enjawulo, abalimi n’abalunzi, abasawo b’ekinnansi, abakiise b’Obwakabaka bwa Buganda mu ssaza Kyaggwe n’abalala bangi.
Omubaka wa Pulezidenti atuula mu disitulikiti eno Hajjati Fatumah Ndisaba Nabitaka asoomoozezza olukiiko luno olulondeddwa okugonjoola ebizibu ebiruma abantu n’okukyusa embeera zaabwe.
RDC Ndisaba asabye abakyala abali mu bifo eby’obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo okulwanyisa ebikolwa ebityoboola eddembe ly’abakyala naddala abaami abakuba bakyala baabwe emiggo n’abo abatayagala kuweerera baana.
Akulembera enzikiriza y’Abalokole mu kibuga Mukono era omusumba w’ekkanisa ya Hope Worship Centre e Mukono Pr. Stephen Kyamagwa akubye olukiiko luno olwa MDF akaama okussa ekitiibwa mu birowoozo by’abantu be bakiikirira.
Akulira abakozi n’entambuza y’emirimu gya gavumenti mu disitulikiti eno CAO Elizabeth Namanda annyonyodde ebimu ku bigendererwa ebiteekesezzaawo olukiiko luno olukulaakulanya n’okuteekateekera disitulikiti.
Namanda agambye nti olukiiko luno lugenda kukola ng’olujegere wakati w’abatuuze mu byalo eby’enjawulo n’abakungu ba gavumenti ku mitendera egy’enjawulo ssaako ab’eby’obufuzi.