Ng’ayogera oluvannyuma lw’okutongoza alipoota eno, Katikkiro Mayiga yayambalidde abakuuma ddembe abasussizza okwenyigira mu bikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ku bannansi ate bano be baandibadde bawa obukuumi.
“Abantu abasoba mu mitwalo 36 be baagobeba ku ttaka omwaka oguwedde nga n’eby’embi, ne gye buli eno tebafunanga we beegeka luba. Emisango 89 gye gyaloopebwa nga gyekuusa ku kutulugunya nga kwesigama ku kikula ky’abantu, obutabanguko mu maka emisango 14,073,” ebyo ne kalonda omulala bye biri mu alipoota nnamutayiika ekwata ku ngeri eddembe ly’obuntu mu Wakiso gye lirinnyiriddwamu mu mwaka gw’eby’ensimbi oguwedde.
Alipoota eno ey’omulundi ogw’okutaano yatongozeddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga e Wakiso ku Lwokutaano nga July 25, 2025.

Ensonga endala ezaalabikidde mu alipoota eno mwe muli obutali bwenkanya mu pulogulaamu za gavumenti naddala PDM, emyooga n’endala ng’abantu bangi naddala abaliko obulemu batono nnyo abaziganyuddwamu bw’ogeraageranya ku muwendo bwe gwandibadde ng’ebibalo bwe bikirambika.
Ensonga z’obutafa ku baana nazo zaanokoddwayo mu lipoota eno eyayanjuddwa Elly Kasirye nga y’akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ng’ayogera oluvannyuma lw’okutongoza alipoota eno, Katikkiro Mayiga yayambalidde abakuuma ddembe abasussizza okwenyigira mu bikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ku bannansi ate bano be baandibadde bawa obukuumi.

Yategeezezza nti okuleka entulugunya erabibwako ng’abantu ba bulijjo bakubibwa abakuuma ddembe ng’abakuba ebisolo eby’omunsiko, bangi ku bannansi era bakwatibwa ne baggalirwa n’abamu nga bawambibwa buwambibwa ng’abakola bino tebagoberera mateeka kye yagam bye nti kikyamu.
Katikkiro era yategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bugenda kukolera wamu n’obukiiko obulwanirira eddembe ly’obuntu mu nteekateeka ey’okulwanirira eddembe ly’abantu okulaba nga terityoboolebwa.
Ono era yasabye disitulikiti ezitannassa mu nkola bukiiko buno okulowooza ku nsonga eno mu bwangu.

Dr Livingstone Ssewanyana, nga y’akulira ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Foundation For Human Rights Initiative yasabye buli gwe kikwatako okuvaayo okuyambako ku nsonga y’abantu abawambibwa naddala mu kiseera kino eky’okulonda eggwanga lye kituseemu.
Elly Kasirye, nga ye ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso yanokoddeyo ezimu ku nsonga enkulu akakiiko ze kakozeeko mu kutaasa abatuuze abazze banyigirizibwa n’okuggyibwako eddembe lyabwe ery’obwebange.
Ssentebe wa district ye wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika agamba nti ebimu kubiviriddeko bannansi okutulugunyizibwa yensonga yabannauganda okwesamba enimi zabwe nga buli biwandiiko bikolebwa munimi ngwiira .
Ye Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso yagambye nti obunkenke busukkiridde eri bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti olw’engeri bannaabwe gye bazze bawambibwamu n’okutulugunyizibwa nga n’abamu ne gye buli eno okuva mu kulonda okuwedde okwa bonna mu 2021 tebalabikanga sso ng’ate abalala bavundira mu makomera.

“Bannayuganda bangi batya okwenyigira mu by’obufuzi nga batya nti oba oly’awo, ebizze bituuka ku balala nabo byandibatuukako. Ekyo nno kikyamu, kuba kyandibadde kirungi nga buli muntu asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw’obwebange okwenyigira mu nsonga z’okuteekawo obukulembeze okuyita mu kulonda ewatali kutya na kunyigirizibwa ekitasoboka mu Uganda ey’akakyo kano,” bwe yannyonnyodde.
Mu ngeri y’emu ye Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana Charlse Kiberu Kisiriiza yakubirizza Bannawakiso okwetegereza obulungi abakulembeze be bagenda okulonda, basobole okulonda abo bokka abanaatwala Buganda ne Uganda mu maaso.
Akakiiko kano era mu ngeri ey’enjawulo kaasiimye ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika wamu ne munnamawulire wa CBS FM 89.2 Emmanduso, Tonny Evans Ngabo olw’obuweereza obulungi bwe bakoze mu kulwanirira n’okulera eddembe ly’obuntu.