Eyali omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi afudde. Kaggo abadde mutuuze ku kyalo ky’e Nabweru.
Amawulire g’okufa kw’eyali Kaggo gasaasaanyiziddwa meeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjoji Oweddembe. Kaggo Tofiri afiiridde ku myaka 96. Ono yali musirikale wa Paapa mu Eklezia Katolika.
Ssaabasajja Kabaka yasiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo ng’olw’obuweereza bwe obulungi eri Obwakabaka bwe.
Eby’okuziika byakubategeezebwa.