Francis Lukooya Mukoome.

Lukooya Amezze Awuye mu Kamyufu ka NRM ku Kya Ssentebe wa Disitulikiti

1 minute, 31 seconds Read

Mu biseera we yabeerera ssentebe wa disitulikiti, Lukooya yali mukulembeze eyali teyeerya ntama nga takkiriza mukozi wa gavumenti anyigiriza muntu wa bulijjo.

Pulezidenti Museveni Enkya Lw’akwasa Abakulu B’ebika By’Abaganda Ettaka Lye Yabagulira

Eyaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome amezze banne bwe babadde bavuganya mu kamyufu ka NRM ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti.

Steven Nakabaale, akulire okulonda kwa NRM mu disitulikiti y’e Mukono alangiridde Lukooya ku buwanguzi oluvannyuma lw’okufuna obululu 29,530 n’addirirwa Yusuf Suleiman Awuye akoonoddeyo obululu 3,099 sso nga ye Jimmy Lugoloobi afunye obululu 569.

Awuye y’amyuka ssentebe wa NRM mu disitulikiti ng’ono yafunye obutakkaanya ne ssentebe we, Hajji Haruna Ssemakula bwe yagezezzaako okumukkaanyisa ave mu lwokaano alekere Lukooya ayitemu nga tavuganyiziddwa ne yeerema era n’ayogera bingi.

I Conceived University Idea 39 Years Ago-Reveals Minister Muyingo

Lukooya yaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono okumala ebisanja bibiri nga yasuulawo ekifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti n’agenda okuvuganya ku ntebe y’obubaka bwa palamenti mu ssaza ly’e Nakifuma n’awangulwa Ying. Robert Kafeero Ssekitooleko.

Ate mu mwaka gwa 2021, Lukooya ate yakyusa n’adda mu Mukono South ng’eno yawangulwa Fred Kayondo munna DP.

Mu biseera we yabeerera ssentebe wa disitulikiti, Lukooya yali mukulembeze eyali teyeerya ntama nga takkiriza mukozi wa gavumenti anyigiriza muntu wa bulijjo.

Lukooya ye yatandikawo enteekateeka y’okuwa abakadde abakuze mu myaka enkizo mu kufuna obuweereza nga tebasimba layini mu bbanka, mu malwaliro, ne mu bifo by’olukale ebirala. Ono era yatandika enteekateeka y’okukuba ensiisira z’eby’obulamu mu byalo mu magombolola ag’enjawulo ng’abasawo ba gavumenti bava mu malwaliro ne bagenda mu byalo okuwa abantu obujjanjabi obw’obwereere naddala abo abakadde abateeyinza kutindigga ngendo kunoonya malwaliro.

Lukooya era yalwanirira ng’abantu abanaku nga takkiriza bagagga kubagobaganya ku bibanja, yakulemberamu kkanso ye disitulikiti n’egula ekyuma ekisima nnayikondo okulaba ng’agonjoola ekizibu ky’ebbula ly’amazzi n’ebintu ebirala bingi bye yakola.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!