Sipiika Tony Bwanika bw’abadde asindiikiriza bannamawulire okufuluma ekisenge ekiteesezebwamu abategeezezza nti tebaayitiddwa mu lutuula lwa kkanso luno.
Abamu ku Bannamawulire abagasakira mu bitundu by’e Mukono balozezza ku bukambwe bw’omukubiriza w’olukiiko lwa Division y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono munnakibbina kya National Unity Platform (NUP) Tony Bwanika bw’abagobye ku kifuba okuva mu lutuula lw’olukiiko (kkanso) luno olw’okuyisa embalirira ya division ey’omwaka gw’eby’ensimbi ogujja 2025-2026 ng’abakugira okukwata ebibadde bigenda okwogerwako.
Abamu ku Bannamawulire ababadde bagezaako okuwalira abasirikale ba kkanso babafulumizza ekisange ekiteesezebwamu nga tebalaba mabega na mmaaso.
Kino kiddiridde Bannamawulire bano okukola eggulire eryali likwata ku lutuula lw’olukiiko luno olwaagwa obutaka ssabbiiti ewedde nga kino kyava ku ssentebe wa divizoni y’e Goma nga naye wa NUP, Humphrey Kyasa ne ‘Executive’ ye obutalabikako.
EC Finally Breaks The Silence, Gazettes MP-Elect Nalukoola’s Victory
Kigambibwa nti olukiiko olw’okuntikko olwa divizoni eno (Executive Committee) olukulemberwa ssentebe Kyasa lwateeka omutemwa gw’ensimbi ogutannaba kumanyika muwendo mu mbalirira ey’omwaka ogujja mbu nga zino ze z’okubayamba mu kukozesa okunoonya akalulu akanabakomyawo mu buyinza omwaka ogujja nga y’emu ku nsonga ezigobezza bannamawulire mu lutuula lwa leero nga babakugira okubyasanguza.
Sipiika Tony Bwanika bw’abadde asindiikiriza bannamawulire okufuluma ekisenge ekiteesezebwamu abategeezezza nti tebaayitiddwa mu lutuula lwa kkanso luno.
Tukitegeddeko nti sipiika Bwanika ne ssentebe Kyasa bakunyizza abakiise mu lutuula luno olw’okwogera ku nsonga ezimu mu b’amawulire nga tebasoose kuzeekennenya oba nga ntuufu era bano bayimirizza abakiise bano obutaddamu kwogera mu mawulire ensonga ezikwata ku divizoni eno.
Abamu ku bakkansala abatuula mu kkanso y’e Goma bavumiridde ekya Sipiika Bwanika okulinnyirira eddembe ly’abamawulire ng’abakugira okukwata ebibadde bigenda okuteesebwako olwa leero naddala ebikwata ku mbalirira y’omwaka gw’eby’ensimbi ogujja 2025-26 ey’ekitundu kino.