Betty Nambooze Bakireke mu kiragala n'ebyeru, mu katono ku kkono, ssentebe Bakaluba Mukasa.

Nambooze Avuddeyo Ku By’okumma Bakaluba Kkaadi ya NUP-Agumusalidde!

5 minutes, 51 seconds Read

Benard Ssembapa ne Julius Nkangi be bamu ku baddidde Nambooze ne bamufuula emboozi okuyita ku mikutu gi mugatta bantu nga bamuvunaana okubeera emabega w’emivuyo gino.

Bangi ku Bannamukono omuli n’abakulembeze mu kibiina kya NUP ababadde basalira omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke omusango, ku ngeri gye bagamba etali nnambulukufu ekibiina gye kyanaabidde mu ngalo ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa.

Ng’asinziira mu lukungaana lwa NUP olwategekeddwa omubaka wa palamenti ow’e Nakifuma, Fred Ssimba Kaggwa e Nakifuma ku Lwomukaaga, amyuka ssentebe wa NUP mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi yategeezezza ng’abakulu mu kibiina bwe baamaze ebbanga nga beekenneenya ensonga ku bavuganya ku kkaadi ya NUP ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa Mukono South okuli abantu ab’enjawulo abavuganya nga; eyaliko omubaka mu kifo kino, Johnson Muyanja Ssenyonga, alina kkaadi mu kadde kano, Male Wilson, Merab Nalumu ssaako musaayimuto, Robert Maseruka ng’ono yaliko omukulembeze w’abayizi (Guild President) ku Makerere University.

Muwanga Kivumbi nga tatunuulidde balala baasaba kkaadi, yategeezezza nti abakulu mu NUP baali batudde ne Muyanja ne bamusaba akkirize, kkaadi ya Mukono South agirekere musaayi muto, nga wano abasinga baakitwala nti yali ategeeza Robert Maseruka.

President Museveni Announces Major Shake-Up in RDCs, RCCs’ Latest Reshuffle

Yagamba nti baasazeewo, Ssenyonga akwatire NUP kkaadi ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Mukono, mu kiseera kye kimu ng’eno Bakaluba yali agisabye ssaako kkansala omulala ku disitulikiti, Stephen Musoke Ganzi.

Ssenyonga yavaayo n’akkiriza okukwata kkaadi eno era n’asuubiza nti ng’alondeddwa ku kifo kino, waakuyamba disitulikiti y’e Mukono okuddamu okuyitimuka okutuuka ku ddaala lya “Model district” nga bwe yakola bwe yali meeya wa munisipaali y’e Mukono.

Wabula bino abasinga ku bannakibiina kya NUP e Mukono okuli n’abakulembeze ssaako abatuuze abalala, olukongoolo ku bino baalusimbye mu mubaka Nambooze nga bagamba nti ye yabadde emabega w’okusendasenda Ssenyonga okumuggya ku kifo kye yasaba eky’obubaka bwa palamenti obwa Mukono South, ate bamuseeseetule bamuteeke ku kifo ky’obwa ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, ekyaleeseewo entalo mu kibiina nga kati Bakaluba alaba nga gwe baagobye mu kibiina kya NUP.

Kkansala Benard Ssempaka, nga y’akiikirira Nakifuma-Naggalama Town Council mu lukiiko lwa disitulikiti y’e Mukono ne munnakibiina, Julius Nkangi be bamu ku baddidde Nambooze ne bamufuula emboozi okuyita ku mikutu gi mugatta bantu nga bamuvunaana okubeera emabega w’emivuyo gino.

Nambooze abaanukudde-Bakaluba yeevunaane yekka!

Oluvannyuma lw’okuwuliriza obulungi obubaka obumulumba okuyita mu maloboozi n’obuwandiike, Nambooze yavuddeyo n’abaanukula ng’ayita ku mukutu gwe gumu nabo obwedda kwe bamulumbira ogwa Mukono Municipality WhatsApp group.

NUP Esaddaase Bakaluba, Kkaadi Baakugiwa Muyanja, Mukono South Maseruka Gwe Bawadde

Nambooze agamba nti bino ebyakoleddwa tabirinaamu mukono k’abeere Muyanja nga bw’alambulula;

“Ssinga Muyanja yali alina omukisa ogwesalirawo, sirowooza nti yandigenze na kifo ky’obwa ssentebe, n’ava ku ye kye yeesabira eky’obubaka bwa palamenti kuba ekya disitulikiti yali akiraba naye n’akirekawo.

Naye ate ne mwami Kyagulanyi n’abakulembeze abalala mubasaasire, ky’oba olaba ngenda kukwata ebigambo bino bye mufukumudde, muweerezeeko naye yeewulirireko, kuba nabo mubasaasire, gw’okubeera ne ssentebe, eyajjira ku kibiina eky’enkyukakyuka, n’amala emyaka etaano nga takozeeyo  wadde n’omukolo n’ogumu mu disitulikiti ogw’ekibiina.

Nga tagenzeeko ku kitebe, ku mukolo gw’ekibiina n’ogumu, nga talabiseeko mu kkooti yonna, nga bannakibiina basimbiddwamu, nga tagenzeeko mulundi na gumu okudduukirira abantu abaabuzibwako abaabwe kyokka nga n’abamu bali mu disitulikiti ye!

Nga yagaana okuteekawo olukiiko lwa disitulikiti olugaba emirimu, nga ssente z’eweereza okusasula abandibadde n’emirimu ziddayo mu Central Gov’t, ng’abakozi ba gavumenti mu disitulikiti temuli, ng’abaana ku masomero batudde temuli basomesa, ng’agenda mu nkiiko za NRM, n’ayogerera waggulu nti eri mu NUP nayitayo nga kkubo lintuusa ku Museveni kufuna ku ssente!,

NUP Teyandabyemu Mugaso-Kati Ndowooza Kuvugunya na Nambooze Zidde Okunywa-Rev. Bakaluba

Oyo, nga ye ssentebe eyeewaana nti ali ku kkaadi yo eya NUP! Tewaliiwo, oba muli mu bya Nalukoola tolimulaba, oba pulezidenti agenze Busoga oba wa tolimulaba, oba akoze mukolo mu Mukono ng’ayita ba NRM ng’abagenyi abakulu, oba alonda bukiiko, okuva ku vice chairman, okugenda ku bakulira obukiiko bwonna ng’alonda ba NRM, nga ku mikolo gya Museveni y’asookawo, era n’akola ‘speech’ eziwaana gavumenti eyo, ng’eno bw’ajerega n’okunafuya NUP!

Ate ne lutuuka ku lunaku olw’esimbawo, n’alyoka aggya ku NUP, nga yeegolodde bwa ntoogo omwongole ‘ticket’, oyo, gw’ogamba nti bannange ekibiina kino nga kiyitiridde obutaba na mazima, omuntu atalina wadde akakolo ak’okubatiza abaana ke yali ayiseeko Kyagulanyi!

Nga ne pulezidenti lwe yajja mu Mukono, n’akubamu olukungaana, yatwekweka n’atabeera ku mukolo na gumu ogwa pulezidenti, nga tagulinnyeeko, wadde okusonga ekikumi olw’omukolo ogwo, wadde okuyimirirawo bwati olw’ekibiina olunaku olumu bwe luti, naye ng’atwala disitulikiti nnamba, naye ng’eri byonna byonna by’akola biyamba mulabe wammwe, mu njogera, mu ki…

Kati ggwe Ssempaka, mirundi emeka gye nkulabye nga weekalakaasa olwa Bakaluba, mirundi emeka, oba wali olimba ng’osaaga busaazi? Yogera ku ffe ba Nambooze, abantu nga badda kuffe ku Social Media ne bagamba, ‘Nambooze, gw’olemezza Bakaluba wano’ n’ebimu nnabisindika wano ne mu biraba, naye ng’ate Bakaluba takulabamu ka buntu!

Pulezidenti, n’atuuza olukiiko olufuzi olw’ekibiina lwonna n’alumalayo, n’ayita Mw. Bakaluba n’amwegayirira nti ssebo, tetugendererako kulumya bantu nga tuli mu buyinza, mpulidde nti amasomero g’e Mukono tegakyalina basomesa, mukama wange, oba ebifo bitwalibwa aba NRM bitwalibwe, naye disitulikiti ereme kugwa mu ntata ng’abaana bagenda ku masomero nga tebasangayo basomesa, n’akomawo n’amunyomoola!

Abo be bantu be mwagala, NUP ekwatirwe akafa nsonyi, bbo nga tebagikwatirwa kafansonyi, oba bandirinze, okwewandiisa kw’abeesimbyewo ne kuggwayo, nga tebatagguludde kintu ekyo, kubanga munnange Ssenyonga, nga naye ng’omuntu, ayagala bwa MP bwa kkonsituwensi, era tayagala kuyingirira Mw. Bakaluba kumuvuganya, naye ng’ekibiina kirina okuwa direction, obukulembeze, eri abantu, era mmwe abatawuliriza, ani yagambye nti Ssenyonga baamuwadde kkaadi?

Muwanga yagambye, nti bano twabatuuzizza, ne tusalawo, Ssenyonga kkaadi agirekere ba musaayi muto. Ggwe mw. Nkangi, ani akugambye nti Nalumu si musaayi muto? Lwaki wejjamu, ani akugambye nti Male si musaayi muto? Lwaki ogamba nti oli atalina na ttooyi gwe baawadde kkaadi?

Kati abalina amayumba agagudde akaleka mu bitundu batukoleddemu ki? Mulekere awo okuyisaamu abantu amaaso, kino ekibiina kyaffe kibiina kya bantu bonna, okuwa buli muntu yenna omukisa, okuteekawo obukulembeze obutali bwa makweka nsaamu, okuwemukira abakola ebibi nga tusookera kw’abo abayambadde engoye zaffe. Kubanga omuntu, tasobola kujja, n’akonzibya disitulikiti, n’emala emyaka nga buli kaseera ezzaayo ssente ezandibadde ez’abakozi abataliiwo olw’obutaba na kakiiko kagaba mirimu.

N’agaana okukolagana na buli muntu, kkanso nnamba, yavuddemu n’omuntu Mulamba agende amwesimbeko, naye ne mudda awo, tosobola kusooka kwefumiitiriza ne weebuuza kiki ekyandibadde kisitula bakadde baffe ne basawo bwe bati, naye buli kimu mukiraba, ne mujja mukiyombera ku mikutu. Ggwe Nkangi ewange tomanyiiyo? Nze ggwe ne Nalumu, lwe nnabatwala okubatwala mbanjule mu NUP, abanvuma banvuma, naye nnakola bubi? Oba kye nnakola kye kituufu, ffe abamu be Mugenda okuteekako ebintu ebyo, kabe kasinge nga ne gye byasaliddwawo tetuliiyo, naye ng’ate ng’abakulembeze naffe tulaba ng’abakulembeze baliko kye bagezaako okugonjoola.”

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!