Bw’abadde ku mukolo ogutegekeddwa omubaka wa palamenti owa Nakifuma, Fred Ssimbwa Kaggwa olw’eggulo lwa leero ku Lwomukaaga nga July 26, 2025, Muwanga Kivumbi ategeezezza nti bamaze ebbanga nga boogerezeganya ne Muyanja ng’era gye byaggweredde ng’akkirizza okulekera Maseruka kkaadi.
Mengo Shuns Museveni’s Groundbreaking of State-Funded sh58bn Buganda Clan Heads Building
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kitabudde eby’obufuzi by’e Mukono naddala bifo eby’enkizo mu kiseera kino buli omu by’ataddeko amaaso ng’alindiridde okulaba ani gwe banaawa kkaadi ku baavaayo ne bateekamu okusaba kwabwe.
Wadde bibadde bikyali bya munda, olwa leero amyuka ssentebe w’ekibiina mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi amaze eggobe mu kibya bw’ategeezezza nti kkaadi ya Mukono South ku bwa palamenti yaakuweebwa Robert Maseruka, olwo eyaliko omubaka wa palamenti ow’ekitundu kino, Johnson Muyanja Ssenyonga abasinga gwe babadde batuulizza amaaso ku kifo kino n’asigala mu bbanga!

Bw’abadde ku mukolo ogutegekeddwa omubaka wa palamenti owa Nakifuma, Fred Ssimbwa Kaggwa olw’eggulo lwa leero ku Lwomukaaga nga July 26, 2025, Muwanga Kivumbi ategeezezza nti bamaze ebbanga nga boogerezeganya ne Muyanja ng’era gye byaggweredde ng’akkirizza okulekera Maseruka kkaadi.
“Muyanja twamusabye akkirize alekere Maseruka, olwo ye tumuwe kkaadi avuganye ku bwa ssentebe bwa disitulikiti,” Muwanga Kivumbi bw’ategeezezza enduulu ne zitta abalabi ababadde bakungaanye mu bungi.
Oluvannyuma lw’okwogera ebyo, Kivumbi akwasizza Ssenyonga omuzindaalo n’alaga nga bw’agondedde abakulu mu kibiina era n’akkiriza okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti ku kkaadi ya NUP.
Ssenyonga ategeezezza nti kituufu mu Mukono South amaanyi abadde agalina ng’obuwagizi bw’abantu abulina wabula n’ategeeza nti olw’okusaba kuno, akkirizza akwate kkaadi ya NUP ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti ng’eno nayo waakugiteeka ku mmaapu ng abwe yakola munisipaali y’e Mukono.
“We nnabeerera meeya wa munisipaali y’e Mukono ng’eri waggulu nnyo, era bwe nnavaawo, kati ebintu nammwe mubirulira. Kati ne disitulikiti nja kugiteekako omukono ngiteeke ewawakanirwa,” bwe yeeyamye.
Olunaku lw’eggulo, kkansala mu kkanso ya disitulikiti, Stephen Musoke Ganzi yagenze ku kitebe kya NUP n’ateekayo okusaba kwe okuvuganya ku kkaadi ya NUP ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti. Tekimanyiddwa butya ono bw’agenda okukolebwa! Oba kati banaamuwa amagezi adde ku bwa kkansala bwe oba anaviiramu awo?
Maseruka y’ani?
Maseruka muvubuka muto nga yali mukulembeze w’abayizi (Guild President) ku Makerere University omwaka 2023-2024 ng’ono okusinziira ku kunoonyereza kw’abakulembeze ba NUP, ono amaanyi agalina aganaamusobozesa okuwangula ekifo ky’obubaka bwa palamenti mu Mukono South.