Omubaka Fred Ssimbwa Kaggwa ne Betty Nambooze, mu katono ye Kiwanuka Suleiman.

Obunkenke E Nakifuma! Kiwanuka Sulaiman Kkaadi ya NUP Eyolekedde Okumusuba!!!

3 minutes, 32 seconds Read

Okusinziira ku by’aliwo ku Lwomukaaga n’ebyo Nambooze bye yayogedde mu ddoboozi eryayise ku WhatApp, abawagizi ba Kiwanuka Sulaiman bawoteevu, tebakyalina ssuubi nti omuntu waabwe ayinza okujja kkaadi e Kavule, wabula eky’okuzzaako, na buli kati kye kikyabeetakuza emitwe.

Obunkenke mu nkambi z’abavuganya ku kkaadi ya NUP ku kifo ky’omubaka wa palamenti e Nakifuma buli waggulu! Bano kuliko omubaka aliyo kati, Fred Ssimbwa Kaggwa n’e Sulaiman Kiwanuka.

Mu basinga okubeera ku matitiibi be bali mu nkambi ya Kiwanuka Sulaiman ng’ono okusinziira ku biva mu nnyumba, wadde y’alina ‘ground’ omubaka aliyo kati, Ssimbwa yandimusinza enkizo naddala waggulu ku kitebe ate ng’eno y’eri abagaba kkaadi.

Bw’okuba ttooki mu byabaddewo ku Lwomukaaga, ku lukungaana Ssimbwa lwe yakubye, gye yakyalizza abakulembeze b’ekibiina okuli amyuka ssentebe w’ekibiina mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi, akulira NUP mu Mukono, era omubaka wa palamenti owa Munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, n’abakulembeze abalala.

Nambooze Avuddeyo Ku By’okumma Bakaluba Kkaadi ya NUP-Agumusalidde!

Ekyakoleddwa ku lukungaana luno, mu kusooka Muwanga Kivumbi okulangirira Robert Maseruka kw’anaakwata kkaadi ya NUP mu Mukono South, olwo ate Johnson Muyanja Ssenyonga ne bamuwa eya disitulikiti, ng’eno n’okugisaba abadde tagisabanga okuva ku ssentebe aliko kati, Rev. Dr. Peter Bakaluba abadde yagisaba, kyalese bangi ng’emitima gibali mu bbanga.

Ate omukolo gw’abadde gukyagenda mu maaso, ne zireeta Kiwanuka Sulaiman, nga wano ab’e Nakifuma nga bakulembeddwamu kkansala Benard Ssempaka, ng’ono ali ku kkaadi ya NUP ng’akiika mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukono nga balumiriza ababaka, Betty Nambooze ne Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni mbu okuyisa eggaali mu Kiwanuka ne batuuka n’okumuyita owa Gen. Muhoozi bbo kye bavumirira nti kyakoleddwa mu mutima mubi okusiiga Kiwanuka enziro lwakuba bano baagala munnaabwe, Ssimbwa y’aba abeera omuganzi mu bakulu oba ku kitebe e Kavule.

Ng’ayita ku mukutu gwa WhatsApp, Ssempaka yavuddeyo n’avumirira ebikolwa by’omubaka Nambooze ne Mulimamayuuni n’agamba nti wadde bbo bataatira Ssimbwa, ‘ground’ Sulaiman y’agirina.

“Kiba kikola kya butaliimu, Sulaiman okujja ku mukolo ogugambibwa okubeera ogw’ekibiina ne batamwanjula nga guli mu kkonsituwensi e Nakifuma, awo abantu bakutunuulira ne bakwewuunya! N’olw’ekyo, wakati mu kulowooza nti Ssimbwa y’asaanidde ng’abakulu bwe mulowooza, mugoberere n’endowooza z’abantu b’e Nakifuma, kuba Sulaiman waabwe, ssinga mukeera ku makya ne musalawo obulala, olwo kinaaba kiteseewo embeera ate enaakosa ekibiina mu maaso eyo!” Ssempaka bwe yalabudde.

Pang-Wielding Men Attack Mukono-Wakiso Districts, Three Suspects Arrested

Nambooze ayanukudde!

Bwe yavuddeyo okumwanukula, Nambooze yategeezezza nti yeewuunya Ssempaka, ng’akageri gye kiri nti balina obutakkaanya ne Ssimbwa, obwamutuusa n’okumuwawaabira mu kkooti, nti ate alabika ezo empalana z’ayagala nabo ng’abakulembeze batambulireko.

Yategeezezza nti abakulu ku kitebe ky’ekibiina e Kavule baabasaba buli mubaka wa palamenti abeeko olukungaana lw’akuba mu kitundu okuyamba ekibiina okusisimula obuwagizi n’okuzza amaanyi mu bantu nga kino kizze kikolebwa mu disitulikiti ne kkonsituwensi endala ng’era olukungaana olw’ekika kino, ne Ssimbwa lwe yakubye ng’era ng’abakulembeze abamanyi n’ebigenrererwa ebirulimu, baabadde balina okulwetabamu.

“Kyannaku nnyo okulaba nga ggwe Ssempaka, Sulaiman gw’ojuliza ng’alina ‘ground’ bwe yategeera nti ekibiina kyali kitegese olukungaana luno, naye n’avaayo n’olukungaana olulala ku lunaku lwe lumu ng’alanga nti abakulembeze ba NUP bonna baali ba kubeera eyo wadde yali akimanyi nti tekyali kituufu.

Kyokka bwe yakola omukolo gwe naffe n’abakulembeze ne tukola ogwaffe ogwali gutegekeddwa okuva ku luberyeberye, ate n’ava eyo n’ebbiina ly’abavubuka abambadde engoye ne langi ya za NUP ne batandika okukola effujjo n’ekigenrererwa ekiteekawo akavuyo olwo poliisi eggye eyimirize olukungaana lwaffe. Kati oyo omuntu ayagaliza kibiina oba?” Nambooze bwe yabuuzizza.

Yagasseeko nti yalabye ekyo tekimumalidde, n’akunga abawagizi be ne baabulira omukolo ng’era alowooza nti abantu bonna baabadde baakumugoberera wadde nga ne kino tekyasobose.

“Nze Sulaiman gwe mugamba nti y’ali ku ‘ground’ takolangako lukungaana mu konsituwensi n’ampita nzije nkunge obuwagizi bw’ekibiina. Kati olwo ayagala nkole ki?” Nambooze bwe yategeezezza.

Okusinziira ku by’aliwo ku Lwomukaaga n’ebyo Nambooze bye yayogedde mu ddoboozi eryayise ku WhatApp, abawagizi ba Kiwanuka Sulaiman bawoteevu, tebakyalina ssuubi nti omuntu waabwe ayinza okujja kkaadi e Kavule, wabula eky’okuzzaako, na buli kati kye kikyabeetakuza emitwe.

Wabula nga bino byonna byogerwa, ye Ssimbwa n’abawagizi be mu kiseera kino basekera mu kikonde! Tunaabiwulira…

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!