Betty Hope Nakasi, sipiika wa disitulikiti y'e Mukono.

Okutunda Emirimu: Akulira Akakiiko Akagaba Emirimu e Mukono ne Sipiika wa Disitulikiti Poliisi Ebaggalidde

1 minute, 45 seconds Read

Okusinziira ku beeby’okwerinda abeenyigidde mu kikwekweto kino, ye Sipiika Nakasi ogumukwasizza kwe kukola nga bbulooka w’okuggya ensimbi ku bantu abaali basaba emirimu.

Bakaluba ng’asika mu mukono gwa Dr. Kibuule (ku kkono), ssentebe wa Mukono District Service Commission lwe baayingira mu woofiisi.

Ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti y’e Ying. Godfrey Kibuuka Kisuule ne sipiika wa disitulikiti y’e Mukono, Betty Hope Nakasi bakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi e Mukono ng’entabwe eva ku bigambibwa nti bano babadde baggya ensimbi ku bantu abaagala emirimu.

Abakwate bakwatiddwa akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi ak’amaka g’omukulembeze w’eggwanga ka State House Anti-Corruption Unit SHACU) olwa leero okuva ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono.

Mariam Natasha, omwogezi w’akakiiko kano aka SHACU gwe twogeddeko naye ku lukomo lw’essimu akakasizza okukwatibwa kwa bano.

Natasha agambye nti okunoonyereza ku bano kugenda mu maaso era wiiki eggya, bano n’abalala abatannakwatibwa baakusimbibwa mu kkooti bavunaanibwe.

Okusinziira ku beeby’okwerinda abeenyigidde mu kikwekweto kino, ye Sipiika Nakasi ogumukwasizza kwe kukola nga bbulooka w’okuggya ensimbi ku bantu abaali basaba emirimu.

Bano okukwatibwa kiddiridde ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa okuyimiriza emirimu gy’akakiiko kano.

Bakaluba yategeeza ab’amawulire nti abadde asusse okufuna abantu abeemulunguya ng abwe bazze baggyibwako ensimbi eziri wakati w’obukadde 10 ku 40. Ono era yasabye abo bonna abaggyibwako ensimbi okuvaayo bawe obujulizi.

Jobs Scandal: Mukono District Service Commission Chairperson, District Speaker Arrested

Disitulikiti y’e Mukono yamala emyaka ng’esatu nga Terina kakiiko kagaba mirimu oluvannyuma lw’endooliito ezaaliwo wakati wa ssentebe Bakaluba n’eyali ssentebe w’akakiiko kano akaayita, Stella Kiondo ng’agamba nti waliwo abantu bangi abaali bamuwaako obujulizi ng abwe yabaggyako ensimbi n’atabawa mirimu.

Wabula oluvannyuma Bakaluba yapondooka n’akkiriza Kiondo okubeera ku kakiiko kano nga mmemba era mu kulayiza akakiiko, yalaalira ssentebe ne bammemba abasigadde okwewala okuggya ssente ku bantu nga babaguza emirimu.

Ne ssentebe wa’akakiiko Ying. Kibuuka naye yeeyama nga bw’atagenda kulya nguzi wadde ng’ate kirabika okusinziira ku bigenda mu maaso ebintu byakyuka ate ne badda ku nguzi ne bakavvula.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!