Bya Tonny Evans Ngabo
Oluvannyuma lw’abakyala banneekoleragyange okutulugunyizibwa mu ng’eri ez’enjawulo omuli abasajja ababakozesa ne batabasasula, ababakaka omukwano, abagaana okukozesa kkondomu ne babasiiga ssiriimu n’ebirala omuli n’abamu abattiddwa nga bali ku mulimu, omubaka wa palamenti akiikirira abantu b’e Kyamuswa mu bizinga by’e Kalangala, Moses Kabuusu avuddeyo n’etteeka ly’agenda okuleeta mu palamenti n’ekigendererwa eky’okulungamya omulimu guno.
Mu bamu ku bantu bamalaaya be beekokkola be b’eby’okwerinda okusingira ddala aba poliisi nga bano bagamba nti babakozesa ne batabasasula kasita bamala okubamalira ekizibu kyabwe.
Kabuusu agamba nti amaliridde okuvaayo n’etteeka erigenda okuyambako abantu abali mu mulimu guno obutanyigirizibwa wabula bakole omulimu gwabwe nga mpaawo abakuba ku nsolobotto.
Okuvaayo n’amawulire gano, Kabuusu yasinzidde mu nsisinkano eyategekeddwa ekitongole ekirwanirira bannekoleragyange ekya Women’s Organisation Network for Human Rights Advocacy (WONETHA) eyabadde ku Fairway Hotel mu Kampala n’ategeeza nti tewakyali nsonga yakwekwekerera ku mulimu guno gw’agamba nti waliwo abantu bangi abagufunamu sso ng’era n’abagukolamu baliko bangi be bataasa mu mbeera ey’okwesanyusa.
Kabuusu mu ngeri y’emu era yategeezezza nti tekikyali kya nkiso, omulimu gw’obw’amalaaya tegukyali gwa bakazi bokka wabula waliwo n’abaami abali mu mulimu guno nabo b’agamba nti basaanidde okuyambibwa n’etteeka lino.
Ate ye omubaka wa palamenti akiikirira munisipaali y’Entebbe, Micheal Kakembo Mbwatekamwa yagambye nti abantu abali mu mulimu guno basaanidde okukola omulimu guno mu ngeri etamalaako bantu balala mirembe nga n’ezimu ku nsonga abakola omulimu gw’obw’amalaaya ze batera okwongera nti basosolebwa ssi ntuufu.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso yagambye nti eky’okumalanga gakwata bamalaaya mu ngeri etagoberera mateeka wamu n’okummibwa obuweereza paalamenti esaanidde okugitunulamu.
Mu mbeera eno, Naome Mbaleeba, nga y’akulira ekinongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu mu banneekoleragyange WONETHA bwe yabadde awaayo ekiwandiiko ku nsonga ezinyiga bamalaaya yagambye nti basanga akaseera akazibu okufuna obuweereza mu malwaliro ne ku poliisi.
Mbaleeba yategeezezza nti waliwo abasajja ababakabassanya kyokka ate bwe bagenda ku poliisi okwekubira enduulu basobole okuggula emisango basajja bano, abasirikale ba poliisi babasekerera busekerezi mu kifo ky’okubawa obuyambi.
Omubaka Kabuusu akiikirira bantu ab’omu bizinga by’e Kalangala ng’eno omulimu gw’okwetunda oba obwamalaaya guli ku mwanjo nnyo nga n’olw’ekyo okuvaayo n’etteeka lino, alabika ng’ayagala kulwanirira bantu be baakiikirira oba oly’awo okuba nga bbo bennyini baamutuukirira ne bamutegeeza ensonga zaabwe.