
Nga ttiimu z’amasaza ag’enjawulo ziri mu kwetegeka okwa kaasa mmeeme ng’okuggulawo empaka z’omupiira z’amasaza 2025 kubindabinda, bbo Bannaggomba bali mu kuzina gunteese oluvannyuma lw’omubaka wa palamenti omukyala okubayiwamu omusimbi.
Sylvia Nayebare, nga ye mubaka omukyala owa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Gomba ttiimu y’essaza agiyiteemu ensimbi obukadde 10.
Ensimbi zino zikwasiddwa omuwanika wa ttiimu Livingstone Kasule, ng’omubaka era asuubizza nti waakuweere waakuweereza obuyambi obulala mu maaso eyo naddala ssinga ttiimu enaakola bulungi n’esuumuka okuva mu kibinja okweyongerayo ku mitendera egya waggulu.
Nayebare ategeezezza nti okuwagira essaza mw’ava ery’e Gomba gwe gumu ku mirimu gye yeeyama era gw’ezzenga akola obulungi ennyo n’agamba nti ate takomye ku mupiira, azze akola n’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda emirala mingi.
Gomba y’eggulawo emipiira gy’amasaza egy’omwaka guno nga yaakuttunka ne Buddu nga 21 June ku kisaawe e Kitovu mu Buddu.