Omusawo mu ddwaliro e Kiruddu nga yeekebejja omwana, mu katono ye mukazi Awusi ateeberezebwa okubayiira asidi.

Omukazi Ow’obuggya Ayokezza Asidi Maama ne Muwalawe-Amuteeberezza Okumwagalira Bba

3 minutes, 41 seconds Read

Waliwo maama ne muwalawe ow’emyaka 12 baggyiddwa mu ddwaliro e Kayunga nga bavunda olw’ebisago ebyabatuusibwako omukazi obuggya gwe bwalinnya ku mutwe n’abayiira asidi ng’entabwe eva ku musajja.

Prossy Awusi omutuuze ku kyalo Kateete ekisangibwa mu ggombolola y’e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono y’agambibwa okukkira Sylvia Achola gw’ateebereza okwagala bba Sunday Mayombwe n’amuyiira asidi ssaako muwalawe Janet Kawuka ow’emyaka 12 gyokka n’abaleka nga bataawa.

Janet Kawuka, omwana ali mu mbeera embi oluvannyuma lw’okumuyiira asidi.

Oluvannyuma lw’ekibambulira kino, abakulembeze b’ekyalo nga bakulembeddwa ssentebe Godfrey Luyima Migadde bagamba nti baayoolayoola abalwadde maama n’omwana ne babaddusa mu ddwaliro e Kayunga oluvanyuma ne babakana n’ogw’okuggulawo omusango ku poliisi e Naggalama.

Luyima agamba nti ekikolwa kino kyaliwo nga July 27, 2024 wakati w’essaawa emu n’ebbiri ez’akawungeezi. Annyonnyola nti baagenda ku poliisi y’e Naggalama eyatwala embwa n’egoba obuufu n’okukonga olusu oluva mu kifo Achola ne muwalawe we baabayiirira acid okukkakkana ng’egguse mu maka ga Awusi era ono n’akwatibwa kuba n’abalwadde okuli Achola ne muwalawe Kawuka nabo gwe baali balumiriza okulaba ng’abayiira Acid nga mu kusooka baali balowooza nti yali abayiiridde mazzi gookya.

Sylvia Achola, gwe baayokya asidi ne muwalawe ng’ali mu ddwaliro e Kayunga.

Mu kiseera kino, bano oluvannyuma lw’okuweebwa obujjanjabi mu ddwaliro e Kayunga nga bongera kuvunda, kyaddaaki olunaku lw’eggulo abasawo baabongeddeyo mu ddwaliro e Kiruddu okulaba ng’abasawo abakugu bongera okubeekebejja n’okubawa obujjanjabi.

Achola yayokebwa ku lubuto, ku bisambi ne mu bitundu bye eby’ekyama sso nga ye muwalawe asinga okubeera obubi yayokebwa kumpi omubiri gwonna okuli; mu maaso, ku mutwe, ku bisambi yenna aleenya buleenya wakati mu bulumi obw’ekitalo bw’alimu.

Eby’embi, abakulembeze nga bali n’ab’oluganda lw’abalwadde beekubira enduulu mu woofiisi ya RDC w’e Mukono okuli RDC Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka n’omumyukawe Mike Ssegawa nga nga bagamba nti wakati ng’abantu baabwe bali mu nnyanga tebamanyi oba n’okuwona banaawona, ate poliisi y’e Naggalama yeekobaana ne woofiisi y’omuwaabi w’emisango gya gavumenti mu kkooti e Nakifuma ne badibaga ffayiro y’omusango guno nga kati n’omusibe yateebwa alya butaala.

Prossy Awusi, agambibwa okuyiira maama n’omwana asidi.

Micheal Kawuka nga ye taata w’omwana agamba nti ku poliisi y’e Naggalama omusango ogwaggulwa ku Awusi gwali gwa kugezaako kutta bantu nga guli ku ffayiro nnamba CRB 669/2024 naye ate eky’abewuunyisa kwe kuba nti mu kkooti baamuvunaana gwa kulumya bantu ekyamuwa ekyanya ne yeeyimirirwa bbo kye bawakanya nga bagamba nti omusango gwe yazza talina na kuvunaanibwa mu kkooti y’e Nakifuma nga yalina kutwalibwa Mukono.

Kigambibwa nti Achola gwe baayiira asidi yagwa mu mukwano ne bba wa Awusi, nga ye Sunday Mayombwe mbu ng’amulinamu n’olubuto nga kino naye (Achola) akikkiriza.

Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka, RDC w’e Mukono.

Woofi ya RDC ebiyingiddemu

RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka agamba nti bamaze ebbanga erisoba mu wiiki nga balondoola ensonga zino okumanya obuzibu. Ndisaba agamba nti yawaliriziddwa okutuukirira atwala abawaabi ba gavumenti mu bbendobendo ly’e Mukono (regional DPP) Florence Akello n’amutegeeza ensonga zino n’amulaga n’ebifaananyi ebiraga abalwadde embeera gye balimu ng’ono yalaze okunyolwa olw’engeri ffayiro eno gye yakwatibwamu.

Yategeezezza nti Akello yawandiise ng’ayita ffayiro eno bagimutwalire ayongere okugyekenneenya okulaba butya ensonga eno bw’eyinza okuttaanyizibwamu nga tewali ludda lunyigiriziddwa.

Omwana Kawuka ng’ali mu ddwaliro e Kayunga.

“Tetwetaaga kuyingirira mirimu gya bantu gamba ng’abasirikale ba poliisi n’abakulu abakola mu kkooti naye ate tetuyinza kutunula butunuzi ng’abantu abanaku banyigirizibwa. Teri nsonga lwaki omwana ono atalina musango avundira mu ddwaliro ng’ate eyamuzzaako omusango ali mu kukozesa ensimbi okudibaga omusango,” RDC Ndisaba bwe yategeezezza.

Sipiika wa disitulikiti y’e Mukono, Betty Nakasi naye yavumiridde eky’omukazi Awusi okuva mu mbeera olw’omusajja n’atuuka okuyiira abantu acid n’atuuka okutwaliramu n’omwana atalina musango n’agamba nti kino kikyamu.

Nakasi yakoowodde ebitongole ebirwanirira eddembe ly’abantu ne bannayuganda abazirakisa okuvaayo okuyamba abantu bano abatalina nsimbi wadde ez’obujjanjabi mu kiseera kino ekizibu kye balimu wakati mu bulumi obw’ekitalo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!