Jjajja Yusuf Mbironzankya.

Omukulu W’Ekika Ky’Effumbe Mbirozankya Eyakulembera Banne Okugenda e Namibia Okulaba Kabaka Kkooti Emugobye!

1 minute, 49 seconds Read
Kabaka ku kkono ne Jjajja Yusuf Mbirozankya ku ddyo.

Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw’Ekika ky’Effumbe, nga kino kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw’okukizuula nti abadde Jajja ow’akasolya ow’ekika kino, Yusuf Mbironzankya yalya nsowole.

Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwa waabwa Katikkiro w’e Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu Ntege omuva oyo alya obwa Walusimbi, omutaka omukulu ow’akasolya ow’ekika ky’Effumbe.

Kkooti ya Kisekwa ng’ekulembeddwamu omulamuzi waayo, Joshua Kateregga, yasomedde enjuyi zombi obujulizi obw’enjawulo kwe yasinzidde okuwa ensala yaayo nga bwonna bulaga nti Ekika ky’Effumbe kimaze emyaka 1000 nga kitambulira mu bukulembeze obutali butuufu.

Museveni Meets Buganda Clan Heads at State House

Oludda oluwanguddwa luweereddwa ennaku 30 okujulira ewa Ssaabasajja Kabaka, ng’ekyo bwe kigaana, ensala eno ejja kuba eteekebwa mu nkola.

Kati kitegeeza nti obukulembeze mu masiga asatu erya Magunda, Nagaya ne Ssempala, bulina okutuula okwerondamu omukulu w’Ekika omutuufu.

Okulya ensowole kitegeeza kutuula ku bukulu bw’ekika mu mankwetu nga tosaanidde.

Jjajja Yusuf Mbirozankya ng’ayogera lwe baagenda e Namibia okulaba Kabaka.

Mbirozankya, omukulu w’ekika ky’Effumbe kkooti ya Kisekwa gwe yakunkumudde omukono mu kibya ng’ogumulangibwa gwa kulya nsowole yali musaale ku bakulu b’ebika abeesala omuguju ne babiteekamu engatto nga bayambibwako Minisita omubeezi owa ttekinologiya, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ne boolekera mu maka ga Pulezidenti w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni gye baafuna obuyambi bw’ensimbi ezaabayamba okulinnya ennyonyi ne bagenda e Namibia Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri gye yali afunira obujjanjabi.

Pulezidenti Museveni lwe yasisinkana Abakulu b’ebika by’Abaganda.

Oluvannyuma lw’ekikolwa kya bano, gavumenti y’e Namibia yasalawo okugaana okwongezaayo VISA ya Kabaka era ekiseera ekyali kiweereddwa olwaggwako ne bamutikka n’azzibwa okwa boobwe.

Abataka bano baagaana okutwala okuwabulibwa kwa Katikkiro wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II eyali abagaanye okugenda e Namibia ng’agamba nti Kabaka abasawo baali bamugaanye okulaba abantu nga bamuwadde ekiseera ekigere okuwummula, wabula nga bino bano byabayita ku mitwe nga mudalizo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!