Prof. Kateregga ng'annyonnyola ng'akyalina ne bbandegi ku mutwe.

Prof. Badru Kateregga Yeekokkola Omukazi Gweyeewasiza-Yankuba Olubale ku Mutwe, Angobye N’awaka

3 minutes, 34 seconds Read

Kyokka Polof. Kateregga yakisimbyeko amannyo nti Nnaalongo yamukuba kata amutte n’alumiriza nti Nnaalongo okutuuka okumutuusaako obulabe, pulaani ye yali yaakumuggyawo amutwaleko yunivasite ye, eya Kampala University esangibwa e Ggaba gye yeetandikirawo emyaka 25, emabega n’atakoma okwo n’amugoba ne mu maka ge kw’okomya amaaso e Buziga.

Nnaggagga nnannyini Kampala University, Prof. Alhaj Badru Kateregga ayunguse amaziga ng’anyumiza abagenyi be ku dduwa gye yategese okwebaza Allah okumuwonya okufa, mukyala muto Nnaalongo gw’alumiriza okumukuba olubale ku mutwe n’akoma ku mugo gw’entaana.

Kateregga bwe yabadde annyonnyola abagenyi be ku dduwa eno, yagambye nti wadde Katonda yamuwonya okufa, akyalina ennaku etalojjeka gy’ayitamu kuba takyasobola kulinnya mu maka ge, ge yeezimbira ku ntuuyo ze ku kasozi Buziga mu ggombolola y’e Makindye mu Kampala.

“Mu kiseera kino nsula mu buwannanguse nga byonna byantuusibwako sserwajjookwota eyanneefuulira n’angoba mu maka gange e Buziga ge nnazimba nga mmanyi nti obukadde bwange bwonna ngenda kuba mu mirembe,” Kateregga bwe yategeezezza.

Gye buvuddeko, Polof: Kateregga kigambibwa nti yafuna obutakkaanya ne mukyala we Nnaalongo Jolly Shubaiha Kateregga gw’alumiriza okumutuusaako obulabe ku mutwe omwaka oguwedde n’addusibwa mu ddwaliro lya IHK e Namuwongo gye yamala ekiseera nga tamanyi bifa ku nsi.

Agenda 2026: Busoga Youth Minister Minister Vows to Show Kadaga Exit Out of Politics

NNAALONGO KY’AGAMBA

Wabula Nnaalongo Shubaiha eby’oku-tuusa obulabe ku bba Polof, Kateregga yabyegaana mu mboozi gye yalimu ku ssimu ne Bukedde TV n’alumiriza Polo-feesa nti eyo y’enkola ye, buli lw’afuna omukazi omupya nga yeecangacangira ku mukazi gw’aba asangiddwa naye. Yamusoo-moozezza nti bw’abeera alina lipooti y’aba-sawo eraga nti bali bamukubyeko n’afuna ekiwundu ku mutwe agiggyeyo.

Kyokka Polof. Kateregga yakisimbyeko amannyo nti Nnaalongo yamukuba kata amutte n’alumiriza nti Nnaalongo okutuuka okumutuusaako obulabe, pulaani ye yali yaakumuggyawo amutwaleko yunivasite ye, eya Kampala University esangibwa e Ggaba gye yeetandikirawo emyaka 25, emabega n’atakoma okwo n’amugoba ne mu maka ge kw’okomya amaaso e Buziga.

Kateregga yagambye nti olubale olwamutuusibwako Nnaalongo ku mutwe Iwamukosa nnyo ne batuuka n’okumulon-goosa omutwe era amaze ebbanga ng’ali mu basawo abamubudaabuda ng’ayambib-wako abaana be abakulu abamutaasa oku-fa. “Basiraamu bannange abazze ku dduwa eno njagala mbabuulire nze ndi musajja mutabaazi era nazaala abaana 25 balamba nga bano kwe kuli abamu abannyamba okulumba gye nnali nenda okufiira ne bannunula mu buwambe gye nnali nkuum-irwa” Kateregga bwe yategeezezza.

Polof: Katereega ku mukolo guno kwe yayanjulidde abaana be 25, b’alina ku nsi era ne yeewaana nti ye musajja Musiraamu, atali wa bulijjo kuba omulanga gwa Naduli yagwanukula bulungi.

Yasiimye abantu bonna abamubeered-dewo mu mbeera embi, Allah gy’asobodde okumuyisaamu emabega era n’abasaba batwale abaana baabwe mu yunivasite eno kuba nnannyini yo musajja muyivu ddala ddala.

ABAANA BE BOOGEDDE

Badria Kateregga, omu ku baana ba Polof. Kateregga eyayogedde ku lwa banne yagambye nti kitaabwe yawonera watono okufa olw’ebyo ebyamutuusibwako bwe yakubwa olubale ku mutwe. “Nsiima Basiraamu bannange mwenna abazze ku dduwa eno ne mik-wano gya taata abatali Basiraamu olw’omukwano gwe mumulaze ogumuyambye okuvvunuka ebizibu by’alimu” Badria Kateregga bwe yategeezezza.

Muwala wa Polof. Kateregga ayitibwa Fakia Kateregga yategeezezza abagenyi baabwe nga nnyaabwe Nnaalongo bwe yali yasibira kitaabwe mu kisenge nga takkiriza bantu kumulaba olw’em-beera gye yalimu.

Ebikwata ku Prof. Kateregga

  • Owek. Ssaalongo Al-Haj Polof. Badru Dungu Kateregga, ye mutandisi wa Kam-pala University erina amatabi agawerako mu Uganda, Rwanda ne Kenya.
  • Mufumbo nga mukyala we asinga okumanyibwa, ayitibwa Nnaalongo Jolly Shubaiha Kateregga era ng’ali ku lukiiko olufuzi olwa Kampala University.
  • Mukiise mu lukiiko Iwa Buganda olukulu era y’omu ku bayima b’ebintu by’Ekika ky’Empologoma ate nga y’atwala ekitongole ky’ettaka mu kika.
  • Mu August wa 2022, yalondebwa okubeera omusikawutu omukulu mu ggwanga (Chief Scout of Uganda). Ye ssentebe w’abasikawutu Abasiraamu abeegattira mu kibiina kya National Union Uganda Muslim Scouts (NUUMS), ssentebe wa International Scouts and Guides Fellowship Uganda Chapter, Chief Commissioner Buganda Royal Scout Movement.
  • Y’omu ku bagolozi b’ebigezo abava ebweru abeebuuzibwako ku bikwata ku by’eddiini n’ebyenjigiriza ku yunivasite y’e Kyambogo era y’omu ku batandisi ba NRM.
  • Yazaalibwa December 4, 1948 nga bazadde be, be bagenzi Hajjati Aisha Na-kato Namusoke ne Hajji Kateregga ab’e Kabasanda mu disitulikiti y’e Butambala.

Yasomera Kabasanda P/S, wakati wa 1956 ne 1964, Kabasanda Junior Secondary School ne Kibuli Secondary School.

 

Mu 1970, yaweebwa ekifo mu Makerere Univesity gye yasomera ebyafaayo n’ebyeddiini. Diguli eyookubiri yagifunira ku School of Oriental and African Studies mu University of London.

Bwe yava e Bungereza yakomawo n’atandika okusomesa ebyafaayo ku yunivasite e Makerere. Mu 1999 ng’akyali e Makerere yeegatta ne banne ne batan-dika Kampala University erina ekitebe e Ggaba okumpi ne Lake Victoria. Yalekulira egy’okusomesa e Makerere mu 2014.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!