Enteekateeka eno yatandika oluvannyuma lw’Omutaka w’ekika ky’e Ffumbe, Walusimbi Mbirozankya bwe yasaba Pulezidenti abayambe n’ensimbi okugula yiika z’ettaka bbiri n’ekitundu basobole okuzimba woofiisi yaabwe e Bulange Mengo ssaako okuteekako enteekateeka endala ez’okwekulaakulanya eri bbo ng’abakulu b’ebika n’Obuganda bwonna okutwalira awamu.
Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’enkya ku Lwokutaano nga 25/07/2025 lw’agenda okulambula ettaka lye yagulira Abataka abakulu b’Ebika mu Buganda era lw’agenda okulibakwasa mu butongole.
Ettaka lino, Pulezidenti Museveni yaligula ku luguudo lwa Kabak’anjagala okumpi n’ekitebe kya Buganda ekikulu ku Bulange e Mengo.
Ettaka lino, omukulembeze w’eggwanga yaligula ku nsimbi za Uganda obuwumbi 9, ze yalagira ziweebwe Abataka okugula ettaka kwe baba bazimba wofiisi yaabwe mu mwaka gwa 2023 bwe baali mu nsisinkano naye mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe.

Enteekateeka eno yatandika oluvannyuma lw’Omutaka w’ekika ky’e Ffumbe, Walusimbi Mbirozankya bwe yasaba Pulezidenti abayambe n’ensimbi okugula yiika z’ettaka bbiri n’ekitundu basobole okuzimba woofiisi yaabwe e Bulange Mengo ssaako okuteekako enteekateeka endala ez’okwekulaakulanya eri bbo ng’abakulu b’ebika n’Obuganda bwonna okutwalira awamu.
Abataka baakulemberwamu Minisita omubeezi owa ICT, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, ng’ono yeebaza Museveni olw’okukkiriza n’asirinkana Abataka.
“Pulezidenti nkwebaza olw’enteekateeka eno egenda okwongera okunyweza enkolagana ya gavumenti ya NRM n’Obwakabaka bwa Buganda ebadde eyuuga okumala ebbanga erisoba mu myaka 30,” bwe yategeeza.

Omutaka akulira ekika ky’e Kinyomo, Samson Nabbimba Lukabya, alina obutaka e Kyasa mu Kyannamukaaka mu ssaza ly’e Buddu yaloopera Pulezidenti nti ettaka ly’obutaka bw’ekika kyabwe, ebitundu nga 85 ku buli 100, ab’ekitongole ky’ebibira ekya NFA baali balisimbyeko olukongoolo nga balitwala nga bagamba nti liri mu kibangirizi ky’ebibira (Forest Reserve Land) era ono yasaba Omukulembeze w’eggwanga okubatakkuluzaako aba NFA ababasuza nga bakukunadde nga lumonde mu kikata.
“Abantu baffe bakwatiddwa ne baggalirwa emirundi mingi, okusaba kwaffe ng’ab’Ekika ky’e Kinyomo kwe kukkirizibwa tutuume ettaka lino olw’emikolo gy’obuwangwa,” bwe yasaba.
Mu kwanukula, Pulezidenti Museveni yategeeza nti; “oluvannyuma lw’okwogeramu, abakulu b’ebika baali basobola okufuna olukusa ne baddayo ne bakola enteekateeka zaabwe ez’obuwangwa nga tebalina abakuba ku mukono. Ebibira n’obuwangwa tebiri ku mbiranye yadde. Tewali buzibu yadde.”
Ono era yasuubiza ng abwe yali ataddewo woofiisi ey’okukwanaganya enkolagana wakati we n’abataka ba abakulu b’ebika by’Abaganda.
NRM Chairperson Ssemakula, His Deputy Awuye Disagree Over Withdrawal From Race