Gye buvuddeko, RDC Ndege yalya matereke ne Minisita omubeezi mu woofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti, Diana Mutasingwa bwe yamusanga ng’akola obwa kalabaalaba ng’eno babbulooka bwe bakoona ennyumba y’abatuuze mu ffamire emu mu munisipaali y’e Njeru.
Minisita atwala woofiisi ya Pulezidenti, Milly Babirye Babalanda agobye RDC w’e Buikwe, Hajjati Hawa Namugenyi Ndege.
Ng’Abaganda bwe baagera nti ekibi kiddira nnyinikyo, Minisita Babalanda alagidde Ndege okukwatamu obubwe, amyumyule engugu azikube e Kampala ku woofiisi etwala ba RDC nga bw’alinda ekiddako.
Abantu ab’enjawulo bazze beemulugunya ku RDC Ndege nga bwe yeekobaana n’abagagga okubba ettaka n’ebibanja by’abantu abanaku abatalina mwasirizi ate be yandibadde ayamba obutatulugunyizibwa!
Gye buvuddeko, RDC Ndege yalya matereke ne Minisita omubeezi mu woofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti, Diana Mutasingwa bwe yamusanga ng’akola obwa kalabaalaba ng’eno babbulooka bwe bakoona ennyumba y’abatuuze mu ffamire emu mu munisipaali y’e Njeru.
Mutasingwa ensonga yazongerayo mu ngeri ya bbwaddene ligambwako nnyiniryo, era terubadde busa, Minisita Babalanda kwe kuvaayo n’amuyimiriza ng’onunoonyereza ku misango enfofoolo egizze gimuwawaabirwa bwe kugenda mu maaso.
Mu bbaluwa Minisita Babalanda gy’awandiise, ategeezezza nti;
“Okusinziira ku kuwaanyisiganya okwaliwo wakati wa RDC w’e Buikwe, ne Minisita omubeezi mu woofiisi y’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, okwaleka abantu nga buli omu ebyaliwo abyogerako bubwe, nga woofiisi ya Pulezidenti yakkakkanyizibwa nnyo; nnungamya bwenti ku nsonga eno:
- RDC w’e Buikwe, Hawa Namugenyi Ndege alina okuyitibwa akomewo ku kitebe ekikulu nga bw’alindiridde okuddamu okuweebwa eky’okukola.
- Lipoota nnamutayiika erina okukolebwa ku nsonga eno ng’era bwe nnalagira edda ku nsonga y’emu.
- Mu kiseera kino, amyuka RDC w’e Buikwe atwale mu maaso woofiisi ya RDC.
- Pulezidenti Museveni aggya kuba yeebuuzibwako ku kiddako oluvannyuma lw’okunoonyereza ku nsonga eno n’okuvaayo ne alipoota ennambulukufu.