Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu atenderezza omukulu w’essomero lya St. Balikuddembe S.S Kisoga, Lydia Lukwago Kagoya olw’omulimu ogw’amaanyi gw’akoze mu ssomero lino emyaka emitono gye yaakamala ng’omukulu waalyo.
Ssekiboobo agamba nti nga Munnakyaggwe amaze emyaka mu kitundu kino, mu myaka egikunukkiriza mu 30 essomero lino gye limaze abadde aliraba nga bwe litambula kyokka nga mu kiseera ekitono Kagoya gy’amaze nga y’alikulira, ekifaananyi kyalyo kikyuse nnyo ne lifuuka eriri ku mutindo buli muzadde ly’ayayaanira.
“Abazadde n’abayizi nsaba mukubireko mu ngalo Muky. Kagoya ono. Nnina ennimiro e Ntenjeru eyo, naye nnayitanga ku ssomero lino ng’embeera gye lirimu, nga lye limu kw’ago amasomero g’otayinza kuggyayo bwe bakusaba amasomero. Naye emyaka egitono gy’amaze mu ssomero lino, ne bw’oba oyita buyisi mu kkubo, bw’oliraba otegeera nti wamma ddala lino ssomero. Ate nno mwana wattu ky’olaba ng’oliyitako, ate ne bw’oyingira munda kye liri, tukwebaza nnyabo olw’okuweereza nga teweebalirira,” bwe yategeezezza.
Okwogera bino, Ssekiboobo yabadde mu mmisa ey’okusabira abayizi ba S.6 abali mu kukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo mu kiseera kino eyabadde ku ssomero nga yakulembeddwamu Fr. Deogratius Kiibi Kateregga, bwanamukulu w’ekigo ky’e Mpigi. St. Balikuddembe S.S Kisoga lisangibwa mu Ntenjeru-Kisoga ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono ku luguudo oluva e Mukono okugenda ku mwalo e Katosi.
Ssekiboobo ku ludda lw’abazadde, yabawadde amagezi okwagala ennyo abaana baabwe n’okwewala okuteekawo oluwonko wakati waabwe n’agamba nti bwe banaakola ekyo, abaana bano baakusobola okusoma ate baveemu abantu ab’omugaso eri bbo ng’abazadde n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.
Omusomesa omutendeke amaze mu nsiike eno emyaka 35 bwe ddu, Ssekiboobo yayise ne mukyalawe gwe yayanjudde nga Dr. Lilian Matovu n’agamba nti ekitiibwa eky’obwa ddokita si kya busawo wabula kyavudde mu kusoma bitabo n’agamba nti alina ddiguli ssatu.
“Abaana abawala njagadde mukimanye nti kisoboka. Muleme kudda eyo mwekwate omusobooza n’okwekubagiza, oba mukyala wa Ssekiboobo asobodde okufuna ddiguli ssatu n’atuuka ku kitiibwa ky’obwa ddokita, naawe omuwala ali eyo okisobola,” bwe yabasomoozezza.
Ssekiboobo era abaana yabasabye okuwulira bazadde baabwe n’abasomesa n’agamba nti eno y’engeri yokka obulamu bwabwe obw’omu maaso gye buggya okusobola okubeera obulungi era obwegombesa.
Yasiimye n’abasomesa olw’okukola omulimu omulungi eri abayizi n’agamba nti alina obukakafu nti bagenda kusobola okuvaamu omulimu omulungi ng’ebibuuzo byabwe bikomyewo.
Ye Fr. Kiibi ng’ayigiriza yalaze okwennyamira olw’empisa ezisusse okuyenjebuka mu bantu ensangi zino n’agamba nti obuseegu busaanikidde nnyo naddala ku mitimbagano ensangi zino ku mikutu omuli Twitter eyitibwa X, TikTok, FaceBook n’emirala.
Ono era yakubidde abazadde omulanga ogutakungula okufuba baggyeyo n’agomu buto bwe kituuka ku kuweerera abaana n’agamba nti bano ye yinsuwalensi yaabwe nga bakaddiye.
Olukiiko lw’abazadde olubadde lukulira ekibiina kya S.6 obutafaananako n’abazadde abalala, baasiimye abasomesa okutandikira ddala ku bakulira essomero n’abasomesa abasomesezza abaana baabwe mu S.6 nga baabawadde ebirabo eby’enjawulo mu ngeri ya kiri mu ttu kimanyibwa nnyinikyo.
Omukulu w’essomero, Lydia Lukwago Kagoya mu kwogera, yasiimye abazadde olw’okubeererawo abaana baabwe ebbanga lyonna okuva mu buto ne batakoowa okutuusa kati ku kadde ak’okukola ebigezo bya UNEB ebya S.6. Kagoya yagambye nti abayizi 308 be baakoze ebigezo ku ssomero lino ng’ate babalinamu obwesige nti ebibuuzo baakubiyitira waggulu okusingako emyaka emikadde.