Katikkiro akubirizza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okugoberera ennambika ezibaweebwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu byonna bye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa. Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alambise abaami b’Amasaza ag’enjawulo mu Buganda okwewala okuteekesa mu nkola ebirowoozo byabwe wabula bagoberere ennambika ebaweebwa okuva embuga enkulu mu Bwakabaka. “Ebirowoozo tulina bingi, naye buli […]