Kyaggwe Ya Kuttunka na Buddu ku Ffayinolo Z’amasaza e Namboole

Ffayinolo y’omupiira gw’amasaza 2024 yakunyumira abalabi e Namboole nga batabani ba Ssekiboobo ab’essaza Kyaggwe battunka n’aba Ppookino ab’essaza ly’e Buddu. Bannakyaggwe bawera nkolokooti nti Buddu bukyanga erya myungu, leero eridde butanga, anti mbu Katonda waabwe abavuddemu, katisa abasudde ku Bakunja, eby’okubala ekikopo eky’okuna kye kiseera babifuuwe ku nninga kuba bbo luutu eno ne Katonda waabwe […]

Essaza Ly’e Kyaggwe Liyungudde Ttiimu Kabiriiti mu Z’amasaza

AGAFA MU NKAMBI Y’ESSAZA LY’E KYAGGWE – THE BUKUNJA WARRIORS Essaza ly’e Kyaggwe limaze okuyungula ttiimu kabiriiti okwanganga amasaza amalala mu mpaka z’omupiira ogw’amasaza ezinaatera okuggyibwako akawuuwo. Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, abazannyi ba ttiimu eno amanyiddwa nga Bukunja Warriors abazannyi baayo bonna baatadde omukono ku ndagaano ezigenda okubafuga mu mpaka zino ssizoni eno. Ebitonotono […]

error: Content is protected !!