Muwala wa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika takyali wa busa, efunye mwana munne amulonze mu bangi. Ono amukubye empeta wakati mu Lutikko e Namirembe ne yeerayirira okwagala oyo omu obulamu bwe bwonna okutuuka okufa lwe kulibaawukanya. Jane Diana Namayanja ye yeerondedde mwana munne era kabiitewe Patrick Mawanda era bano kati bali […]