Eky’okuba munnakibiina kya NUP, Sipiika wa disitulikiti y’e Mukono, Betty Hope Nakasi tekimulobedde kwambalira munnakibiina munne, Bernard Ssempaka akiikirira ab’e Nakifuma mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukono nga n’entabwe kw’eva kwe kugenda mu kkanso ng’ayambadde akakofiira ka NUP akamanyiddwa nga ‘beret’. Ng’akubiriza kkanso, sipiika Nakasi nga naye munnakibiina kya NUP yategeezezza nti kibi nnyo abantu […]
Nakasi era abadde avunaana Ssempaka olw’okusiwuuka empisa, okweyisa ng’ekitagasa n’obutassa kitiibwa mu ntebe ye nga sipiika wa kkanso naye ng’omuntu akubiriza kkanso ya disitulikiti. Poliisi y’e Mukono ekutte n’eggalira kkansala akiika mu kkanso ya disitulikiti lwa kujeema kufuluma mu kkanso mwe yagobwa olw’okusiwuuka empisa. Bernard Ssempaka akiikirira ttawuni kkanso y’e Nakifuma-Naggalama mu kkanso eno y’akwatiddwa […]