Effujjo mu Mipiira Gy’amasaza! Buvuma ne Bugerere Gabonerezeddwa!!!

Amasaza gombi, Buvuma ne Bugerere gaaweereddwa ekibonerezo okuva mu maka gaago gagende ku bugenyi gye gaba gakyaliza emipiira gyago egiddako. 24yr-Old Medic Kills 45yr-Old Pregnant Girlfriend For Refusing to Abort Oluvannyuma lw’okulwagana wakati w’abawagizi okuli ab’essaza ly’e Buvuma n’e Bugerere mu mupiira gwe baasamba Ssabbiiti ewedde, olukiiko olufuga empaka z’amasaza luvuddeyo ne lubonereza amasaza gombi. […]

Essaza Ly’e Kyaggwe Liyungudde Ttiimu Kabiriiti mu Z’amasaza

AGAFA MU NKAMBI Y’ESSAZA LY’E KYAGGWE – THE BUKUNJA WARRIORS Essaza ly’e Kyaggwe limaze okuyungula ttiimu kabiriiti okwanganga amasaza amalala mu mpaka z’omupiira ogw’amasaza ezinaatera okuggyibwako akawuuwo. Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, abazannyi ba ttiimu eno amanyiddwa nga Bukunja Warriors abazannyi baayo bonna baatadde omukono ku ndagaano ezigenda okubafuga mu mpaka zino ssizoni eno. Ebitonotono […]

Kitalo! Munnabyanjigiriza Matovu Kyagambiddwa Afudde

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa olweggulo lwa Mmande bwe baafunye amawulire g’okufa kwa munnabyanjigiriza eyawummula Matovu Kyagambiddwa.  Kyaggwe TV ekitegeddeko nti Kyagambiddwa we bamutuusirizza mu ddwaliro lya Mukono General Hospital abasawo bategeezezza abamututteyo nti abadde yassizza dda ogw’enkomerero. Wabula abamututteyo tebakkaanyizza na bigambo bya basawo era bakkaanyizza ne bamwongerayo mu ddwaliro lya Mukono General Hospital erya gavumenti […]

error: Content is protected !!