Ensonga z’akakiiko akagaba emirimu aka disitulikiti y’e Mukono (District Service Commission (DSC) ) zirinnye enkandaggo, bakkansala bwe beekumyemu ogutaaka ne bagaana okuyisa bbajeti y’omwaka 2024/2025 okuleka ng’akakiiko kano kateekeddwawo ng’amateeka bwe galambika. Emyaka gisobye mw’esatu bukyanga kakiiko akakadde akagaba emirimu kaggwako kyokka kaweefube alonda akakiiko akapya mu bbanga lino lyonna azzenga agwa butaka. Disitulikiti efiiriddwa […]
Mu mbeera ya ‘bbwa ddene ligambwako nnyiniryo’, omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke aludde ddaani n’asitukira mu munnakibiina munne ekya National Unity Platform (NUP) ng’ono ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Dr. Rev. Peter Bakaluba Mukasa ng’amusaba mbagirawo ateekewo embeera esobozesa okulonda akakiiko akagaba emirimu. Nambooze ng’akulembeddemu abeekalakaasi abaabadde bakutte ebipande ebiraga obutali […]
