Eyabadde kalabaalaba w’okulonda kuno, nga y’atwala eby’okulonda kwa NRM mu Greater Mukono, Samuel Eyenga, yalagidde okulangirira ebyavudde mu kulonda ku kifo kino okuyimirizibwa. Okulangirira omuwanguzi wakati w’abaavuganyizza mu kamyufu ka NRM okufuna anaakata bendera ya NRM ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono kukyajulidde. Kiddiridde okukwatibwa kw’eyakuliddemu okulonda kwa divozoni y’e Goma Joseph […]