Oluvannyuma lw’okutuva ku maaso olwa leero ku Mmande nga October 21, 2021, enteekateeka z’okukungubaga n’okuziika Ssaalongo John Ssekandi zifulumye. Omulambo gwa Ssaalongo John akawungeezi ka leero gugyiddwa mu ddwaliro ne gukomezebwawo mu maka ge e Nabuti mu kibuga ky’e Mukono gy’agenda okusula ng’abantu okuli ab’oluganda, emikwano bamukungubagira. Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku […]