Ng’ayogera oluvannyuma lw’okutongoza alipoota eno, Katikkiro Mayiga yayambalidde abakuuma ddembe abasussizza okwenyigira mu bikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ku bannansi ate bano be baandibadde bawa obukuumi. “Abantu abasoba mu mitwalo 36 be baagobeba ku ttaka omwaka oguwedde nga n’eby’embi, ne gye buli eno tebafunanga we beegeka luba. Emisango 89 gye gyaloopebwa nga gyekuusa ku kutulugunya nga […]
Abayizi ku yunivasite ez’enjawulo basabiddwa okukulemberamu kaweefube w’okulwanirira eddembe ly’obutundu erisisse okutyoboolebwa mu ggwanga ensangi zino baleme nsonga eno kugirekera bannabyabufuzi bokka n’ebitongole eby’obwannakyewa. Bino byabadde mu kutongoza alipoota ey’okuna ey’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso eya 2023 ku Makerere University, School of Veterinary Medicine ng’alipoota y’omulundi guno ebadde ku mulamwa ogw’okwongera amaanyi mu ddembe ly’obulamu, […]