Munna NRM agudde ku kyokya ye Marvin Mugisha ng’ono alagiddwa okuyimiriza mbagirawo enteekateeka z’okunoonya obuwagizi okutuusa ng’avuddeyo n’awaayo okwewozaako kwe. Oluvannyuma lw’ebbanga ng’aby’okwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo basomeddwa eky’okuzzaako olwa Bannakibiina kya NRM abasusse okukola ebibinja by’abavubuka abakola effujjo ku bannaabwe nga banoonya obululu, ebyakazibwako eggaali, akulira akakiiko k’eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi akambuwadde. […]