Sserunkuuma Eyatta Omukulu W’ekika Ky’Endiga Aziikiddwa mu Nkukutu

Abaganda baagera nti “Ekidiba kidda wa nnyinikyo, essanja mu lusuku”, ne ffamire y’omuvubuka kalibutemu eyeenyigira mu kikolwa eky’okukuba abadde omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Ying. Daniel Bbosa amasasi agaamuttirawo, yeevuddemu n’esaba omulambo gwe okuva mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ne bamutwala ne bamuziika mu nkukutu. Okusinziira ku nsonda enneekusifu mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago, ab’oluganda lwa […]

Eyakuba Lwomwa Amasasi Agaamutta Apooca na Biwundu-Ali ku Mpingu e Mulago mu ddwaliro

Noah Luggya, y’omu ku batemu ababiri abagambibwa okwenyigira mu ttemu ly’emmundu bwe baakuba omukulu w’ekika ky’Endiga amasasi agaamuttirawo. Luggya nga ye kennyini ye yakwata ku mmanduso n’akuba Ying. Daniel Bbosa amasasi agaamutta, ng’erimu lyamukwata ku mutwe, eddala mu kamwa ne mu liiso, ono oluvannyuma lw’abagoba ba bodaboda okubagoba munne bwe baali, Enock Sserunkuuma ne bamukuba […]

Poliisi Y’akukunya Abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda 6 ku Byekuusa ku Ttemu Ly’omukulu W’ekika Ky’Endiga

Poliisi ng’eri wamu n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala enyinnyittizza okubuuliriza ku butemu bw’emmundu obwakoleddwa ku mukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa eyakubiddwa amasasi agaamutiddewo ku Ssande e Lungujja mu kibuga Kampala. Wabula ekitiisa mu nsonga eno, kwe kuba nti okubuuliriza kwa poliisi kusonze ne mu bamu ku bakungu mu Bwakabaka bwa Buganda nga mukaaga ku bano […]

error: Content is protected !!