Noah Luggya, y’omu ku batemu ababiri abagambibwa okwenyigira mu ttemu ly’emmundu bwe baakuba omukulu w’ekika ky’Endiga amasasi agaamuttirawo.
Luggya nga ye kennyini ye yakwata ku mmanduso n’akuba Ying. Daniel Bbosa amasasi agaamutta, ng’erimu lyamukwata ku mutwe, eddala mu kamwa ne mu liiso, ono oluvannyuma lw’abagoba ba bodaboda okubagoba munne bwe baali, Enock Sserunkuuma ne bamukuba ne bamutta, ye yasobola okusimattuka poliisi n’emitwala mu ddwaliro e Mulago ng’apooceza n’ebiwundu nga bw’afuna obujjanjabi wakati mu bukuumi obw’enjawulo.
Amawulire agava e Mulago galaga nti Luggya akuumibwa abasirikale mukaaga wakati mu kuba ng’ali ku mpingu, ng’enjegere zimusibiddwa ku magulu.
Okusinziira ku kifaananyi ekyafulumye okuva mu ddwaliro e Mulago, kiraga Luggya nga yeebase ku katanda k’eddwaliro ng’emikono agitadde mu kifuba nga kuliko kkanula mwe bayisa eddagala erimukubibwa abasawo ssaako okuba nga ffeesi ewulubadde olw’emiggo egyamukubibwa.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, Luggya baamutwala mu ssikaani ne bamukebera ne bakizuula ng’omutwe wadde gwulubadde nga bw’alabika mu kifaananyi, tegwafuna buvune bwamunda nga ne bwe kityo, baakumuwa obujjanjabi awone asobole okubitebya butya, lwaki, wa era ani yamutuma na kigendererwa ki ekyali amabega w’ettemu lino.
Amawulire era galaga nti poliisi yafuna essimu ya Luggya gye bazze bakozesa okufuna ebimu ku biyamba ku kunoonyereza mu musango guno.
Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, poliisi yakutte omuwandiisi wa kkooti ya Buganda eya Kisekwa, Milly Naluwenda nga kigambibwa nti ekyamukwasizza kyekuusa ku musango guno ogw’ettemu ly’omukulu w’ekika ky’Endiga, Ying. Lwomwa Daniel Bbosa, ng’ono abazigu baamumizizza omusu ku Ssande ewedde e Lungujja ng’anaatera okutuuka ewuwe.
Wakati mu kukwata Naluwemda, abapoliisi abataabadde mu yunifoomu baakubye amasasi okwagala okugumbulula abantu abaabadde batamuuse nga balowooza nti baabadde babbi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, wadde amawulire gasoose kuyitingana nti Naluwenda yabadde awambiddwa abatamanyangamba, yavuddeyo n’akakasa nti ono ab’eby’okwerinda be bamulina ng’abayamba ku kunoonyereza kwe baliko. Enanga yasabye aba ffamire ya Naluwenda okubeera ab’abakkakkamu mu kiseera kino bawe ab’eby’okwerinda ekyanya okukola omulimu gwabwe.
Kitegeerekese nti abantu basatu kati be baakakwatibwa ku byekuusa ku ttemu lino.
Ekika ky’Endiga nga kiri wamu n’Obwakabaka bwa Buganda kikoze enteekateeka okutereka Omutaka Lwomwa e Mbale mu disitulikti y’e Mpigi ku Ssande ku butaba bw’ekika ky’Endiga.