Nga ttiimu z’amasaza ag’enjawulo ziri mu kwetegeka okwa kaasa mmeeme ng’okuggulawo empaka z’omupiira z’amasaza 2025 kubindabinda, bbo Bannaggomba bali mu kuzina gunteese oluvannyuma lw’omubaka wa palamenti omukyala okubayiwamu omusimbi. Sylvia Nayebare, nga ye mubaka omukyala owa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Gomba ttiimu y’essaza agiyiteemu ensimbi obukadde 10. Ensimbi zino zikwasiddwa omuwanika wa ttiimu Livingstone Kasule, […]