Oluvannyuma lw’okuva mu bulamu bw’ensi eno, enteekateeka z’okuziika munnamawulire Geoffrey Kaweesa zifulumye. Kaweesa nga yafiiridde mu ddwaliro e Kiruddu gy’amaze ebbanga ng’ekirwadde kya kkansa kimugoya agenda kuziikibwa ku kyalo Namawojjolo-Buligobe ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono olwaleero ku Lwokusatu nga May 22, 2024 ku ssaawa kkumi ez’olw’eggulo. Kaweesa nga yazaalibwa nga June […]
Ab’amawulire baguddemu encukwe enkya ya leero bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omu ku bannaabwe, Geoffrey Kaweesa. Kaweesa nga tannalwala yali asoma mawulire ku Top TV kyokka ng’ekirwadde kya kkansa kyamugwira ne kimugonza nga kirudde nga kimugonya. Ono afiiridde mu ddwaliro e Kiruddu. Kaweesa mutuuze w’e Mukono mu ggombolola y’e Nama era yeesimbawo kko mu by’obufuzi nga […]