Rev. Mugalu yategezezza abakungubazi okweteekerateekera okufa kubanga abantu kati bafa mu nfa etategeerekeka n’ageza ku Ssebunnya gwe yagambye nti yafudde mu ngeri ey’ekibwatukira ate ey’ekyewuunyo ennyo. BYA ABU BATUUSA Okuziika bbulooka w’ettaka, David Ssebunnya abadde amannyiddwa ennyo nga Kapipa eyafiiridde mu kabenje kweyolekeddemu katemba, ab’abaana b’omugenzi bwe basse mu ntaana ne baggyayo omulambo gwe ogwabadde […]
Bya Tonny Evans Ngabo Abakristu mu kigo kya Our Lady of Assumption e Mwereerwe, ekisangibwa mu divizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu encukwe bwe bakedde ku makya ne basanga nga klezia yaabwe ababbi baagimenye ne babba ebintu eby’enjawulo n’okwonoona ebintu ebiweredde ddala. Okusinziira ku Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. James […]
