Ate ye Vivian Kalule okuva mu ggombolola y’e Nama yagambye nti bingi bye bafiiriddwa ng’ekibiina olw’entalo ezitaggwa munda mu kibiina, ekintu ky’agambye nti kiyuzizza buyuza mu kibiina, nti kati essuubi balirengedde mu Haji Ssemakula. Bammemba b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, abamu ku baakwatira ekibiina bendera mu kulonda okwa 2021 ku mitendera egy’enjawulo mu distulikiti […]
