Wadde Minisita omubeezi ow’eby’ettaka yavaayo ne yeegaana eky’okuzza ku ttaka ab’ebibanja n’okubakumamu omuliro okwonoona ebintu by’ekkanisa n’eby’abantu abalala okuli ery’ekkanisa ya St. Luke Town Church Kirangira mu munisipaali y’e Mukono ne ku ttaka ly’omugagga Dick Israel Banoba ku byalo okuli Kirangira ne Lwanyonyi, abeeyita ab’ebibanja bakyagenda mu maaso n’okukola effujjo si ku kkanisa yokka wabula […]