Enteekateeka eno yatandika oluvannyuma lw’Omutaka w’ekika ky’e Ffumbe, Walusimbi Mbirozankya bwe yasaba Pulezidenti abayambe n’ensimbi okugula yiika z’ettaka bbiri n’ekitundu basobole okuzimba woofiisi yaabwe e Bulange Mengo ssaako okuteekako enteekateeka endala ez’okwekulaakulanya eri bbo ng’abakulu b’ebika n’Obuganda bwonna okutwalira awamu. Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’enkya ku Lwokutaano nga 25/07/2025 lw’agenda okulambula ettaka lye […]