BYA WILBERFORCE KAWERE Minisita wa Ssaabasajja Kabaka avunanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, okulambula kw’Omutanda n’abantu abali ebweru wa Buganda, Joseph Kawuki alabudde abaweereza mu Bwakabaka n’okusingira ddala abaami obutageza kuva ku mulamwa nga bakola emirimu mu ngeri eya gadibengalye n’okukola ebyo ebibaweebula ng’okutunda ettaka ly’Obwakabaka. Okulabula kuno, Minisita Kawuki abadde Kyaggwe mu Katende Gardens e Kalagi […]