Omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awadde Bannayuganda essuubi ly’okumalawo ebbula ly’emirimu bw’ategeezezza nti agenda kubunyisa enjiri y’okulimira n’okulundira awafunda kubanga akizudde nti ekolera ddala. Wano Museveni anokoddeyo omulunzi era omulimi w’e Fort Portal, Richard Nyakana awadde obujulizi nti ayingiza obukadde bw’ensimbi 180 omwaka okuva ku yiika emu gy’akozesa. Pulezidenti agamba ssinga abantu bava mu […]