Ssaalongo John: Abantu Bye Boogera ku Yali Omusomi W’ebirango ku CBS Eyafudde

Eyali omusomi w’ebirango ow’erinnya ku mikutu gya leediyo ez’enjawulo okuli Leediyo Uganda, CBS ne Super FM, kati omugenzi Ssaalongo John Ssekandi Lukoda Katalikabbe abadde omutaka ku kyalo Nabuti mu kibuga Mukono, ku lunaku lwa bbalaza Mukama yamujjuludde okuva mu bulamu bw’ensi eno. Ssaalongo John yaguddee mu kinaabiro n’amenyeka eggumba ly’ekisambi, n’addusibwa mu ddwaaliro e Naggalama, […]

Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo Uganda ne CBS

Olunaku lwa leero nga October 21, 2024, eggwanga lyaguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omusomi w’ebirango kayingo, Ssaalongo John Ssekandi Katalikabbe, ng’ono ebirango yabisomera ku Leediyo Uganda, CBS ne Super FM. Ssaalongo John yazaalibwa June 24, 1934, nga mwana nzaalwa y’e Nabuti mu kibuga Mukono. Ono mutabani wa Yosam Ssettubakkadde ne Miriam Nansubuga ng’era […]

error: Content is protected !!