Poliisi yakutte omukazi Susan Namuganza agambibwa okusalako bba obusajja n’abukutulako n’amuleka ng’ataawa ye ne yeddukira. Moses Kawubanya, ye yasalibwako obusajja oluvannyuma lw’okufuna obutakkanya ne mukyalawe Namuganza. Mu kiseera kino, Namuganza poliisi yamugguddeko musango gw’akugezaako kutta omuntu n’ogw’obubbi. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Busoga, Micheal Kasadha, Namuganza yasangiddwa ku kyalo Buwaga mu ggombolola […]