Ab’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi wamu n’abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso bakiguddeko abasima omusenyu mu nnyanja mu bitundu by’e Kasanje bwe babalabyeko ne bassaako kakokola tondeka nnyuka kwossa okuyiwa entuumu z’omusenyu mu kubo okubalemesa okutuuka mu kifo kino awaateekebwa aguuma wamu n’ebimotoka ebiyiikuula omusenyu okuva mu nnyanja Nalubaale. Ssentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi era […]