Munnakyaddondwa yanywedde akendo mu Bannalulungi okuva mu masaza ag’enjawulo mu mpaka ez’akamalirizo ezaabadde ku Hotel Africana ku Lwokutaano. Namale Kisha Ruth okuva mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaddondo ye yasitukidde mu kapyata w’emmotoka oluvannyuma lw’okuwangula empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2024. Namale eyeddira ekkobe yaddiriddwa Zalwango Miriam okuva mu ssaza ly’e Buddu ate Bisoboka […]