Pulinsipo w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amakanda agasimbye Mukono olwaleero okutalaaga ebifo eby’enjawulo nga bw’awuubira ku bannakibiina n’okubawa obubaka obw’enjawulo obw’enkyukakyuka. Kyagulanyi olunaku alutandikidde Nakasajja ku luguudo oluva e Kampala okuyita e Gayaza ppaka Kayunga gy’ayaniriziddwa bannakibiina mu bungi olwo n’ayolekera Kalagi gy’agguddewo woofiisi y’ekibiina eya kkonsituwensi ya Mukono North. Ng’ayogera n’ab’amwaulire ku kitebe […]