Eky’okuba munnakibiina kya NUP, Sipiika wa disitulikiti y’e Mukono, Betty Hope Nakasi tekimulobedde kwambalira munnakibiina munne, Bernard Ssempaka akiikirira ab’e Nakifuma mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukono nga n’entabwe kw’eva kwe kugenda mu kkanso ng’ayambadde akakofiira ka NUP akamanyiddwa nga ‘beret’. Ng’akubiriza kkanso, sipiika Nakasi nga naye munnakibiina kya NUP yategeezezza nti kibi nnyo abantu […]