Abakkiriza mu kkanisa y’abalokole eya Mt. Lebanon e Mukono bafunye ku buweerero okuva ku bunkenke bwe babaddeko okumala emyaka egisoba mu kkumi nga beeraliikirira ekkanisa yaabwe okumenyebwa olw’emisango gy’ettaka gye babadde bawerennemba nagyo wakati waabwe n’ab’ekkanisa ya United Methodist Church of Uganda. Bano bazze basindana mu misango egy’enjawulo ng’okusembyeyo ogwawaabibwa mu mwaka gwa 2023 ng’ekkanisa […]