Munnabyanjigiriza e Mukono n’emiriraano, Vincent Matovu Bintubizibu atuuziddwa nga Ssekibooboi ku mukolo amatendo ogubadde ku kitebe ky’essaza ly’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono. Omukolo gw’okutuuza Ssekiboobo n’abamyukabe ku lwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gukoleddwa Minista wa Buganda ow’abavubuka, emizannyo n’ebitone Ssalongo Robert Sserwanga ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki. Ssekiboobo akoze emikolo gy’eby’obuwangwa […]