Ng’ayogera oluvannyuma lw’okutongoza alipoota eno, Katikkiro Mayiga yayambalidde abakuuma ddembe abasussizza okwenyigira mu bikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ku bannansi ate bano be baandibadde bawa obukuumi. “Abantu abasoba mu mitwalo 36 be baagobeba ku ttaka omwaka oguwedde nga n’eby’embi, ne gye buli eno tebafunanga we beegeka luba. Emisango 89 gye gyaloopebwa nga gyekuusa ku kutulugunya nga […]