Bya Tonny Evans Ngabo Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima baamuggye ku mudaala gw’abanoonya. Ono bba Ying. Tadeo Lugoloobi amukubye empeta wakati mu Lutikko e Lubaga mu kibuga kya Ssaabasajja Kabaka eky’e Kampala. Omubaka Naluyima ne bba Lugoloobi bakubye ebirayiro by’okwagalana okutuusa okufa lwe kulibaawukanya, okwagalana mu bwavu n’obugagga, […]