Bassentebe B’ebyalo Babanja Musaala – Mbu N’omutwalo Ogwa Buli Mwezi Gulemeddeyo!

BYA TONNY EVANS NGABO | BUSSI | KYAGGWE TV | Bassentebe b’ebyalo mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso batabukidde gavumenti olw’okubakandaaliriza okubasasula ensimbi omutwalo mutwalo ogwa buli mwezi gw’ebasasula olw’obuweereza bwe bakola mu bitundu byabwe. Bano bagamba nti okumala omwaka mulamba, tebafuna wadde ekikumi ky’ensimbi nga kati y’ensonga lwaki basazeewo okusitula ku ddoboozi […]

Omubaka Naluyima Mwennyamivu Olw’abazadde Abatakyafa ku Baana Balenzi

BYA TONNY EVANS NGABO | NAALYA | KYAGGWE TV |  Omu ku babaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’abaana agamba nti ssinga tewabeerawo kikolebwa ku nsonga y’abaana abalenzi abatakyafiibwako ng’abazadde essira balitadde ku baana bawala, eggwanga lyolekedde okufuna omulembe gw’abaami abatalimu nsa. Ono ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel […]

Gavumenti ne Minisitule Y’eby’obulamu Basabiddwa Basabiddwa Okutuusa Obujjanjabi Bwa Kkansa mu Byalo

BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | MENDE-WAKISO | Ng’eggwanga likyali mu mwezi gw’okwefumiitiriza wamu n’okumanyisibwa ku kirwadde kya kkookolo (cancer), gavumenti ne Minisitule y’eby’obulamu bisabiddwa okulowooza ku nsonga y’okugayiza obuweereza ku bujjanjabi bw’ekirwadde kino eky’eyongedde okuwanika amatanga mu Bannayuganda ensangi zino. Okusinziira ku bibalo, we twogerera nga Bannayuganda abawerera ddala 33,000 be bazuulibwamu obulwadde […]

RDC Alabudde Bannamwandu Okwewala Okuwasiza Abasajja mu Nnyumba za Babbaabwe

BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | WAKISO | Bannamwandu mu disitulikiti y’e Wakiso balaze enyiike gye bayitamu olw’abantu naddala ab’enganda za babbaabwe ababakkakkanako ne babatulugunya omuli n’okubagoba mu maka gaabwe amangu ddala nga baakafiirwa babbaabwe. Bano bagamba nti oluusi n’abaana babeefuulira ne babagoba mu by’obugagga bye baba baakolera ne babbaabwe nga bakyali balamu […]

Abasima Omusenyu mu Nnyanja Bakoze Effujjo ku B’akakiiko K’obutonde Bw’ensi

Ab’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi wamu n’abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso bakiguddeko abasima omusenyu mu nnyanja mu bitundu by’e Kasanje bwe babalabyeko ne bassaako kakokola tondeka nnyuka kwossa okuyiwa entuumu z’omusenyu mu kubo okubalemesa okutuuka mu kifo kino awaateekebwa aguuma wamu n’ebimotoka ebiyiikuula omusenyu okuva mu nnyanja Nalubaale. Ssentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi era […]

Minisita Wa Kabaka Alabudde Bannabyabufuzi Abasiga mu Bantu Obukyayi Okubakyayisa Obwakabaka

BYA TONNY EVANS NGABO Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amawulire n’okukunga era omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda Israel Kazibwe Kitooke alabudde bannabyabufuzi abagufudde omugano okubunyisa obubaka obusiga mu bantu ba Kabaka obukyayi n’ekigendererwa okubakyayisa Obwakabaka bwabwe. Minisita Kazibwe agambye nti ensangi zino, eriyo bannabyabufuzi abagufudde omugano okusiga amawulire ag’obulimba mu bantu ba Kabaka nga beerimbika nga bbo […]

Ab’e Lubigi Balaajana Lwa NEMA Kubamenyera Mayumba-Agasoba mu 150 Gasigadde ku Ttaka!

BYA TONNY EVANS NGABO Olunaku lwa Mmande nga May 27, 2024, ekitongole ekivunaanyizibwa ku buttoned bw’ensi ekya NEMA wamu n’ekitongole kya KCCA baalumaze mu Lubigi nga bamenya amayumba wamu n’okugobagana n’abantu be bagamba nti beesenza mu ntobazi mu kitundu kino. Ennyumba ezisoba mu 150 ze zimenyeddwa ne zisigala ku ttaka mu kaweefube NEMA g’eriko okulaba  […]

Ababadde Bagenda Okubala Abantu Bagudde ku Kabenje-Omu Amenyese Okugulu

BYA TONNY EVANS NGABO Abantu babiri be bapooca n’ebiwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje bwe baabadde bakedde okugenda mu bifo gye baagabiddwa okukolera. Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano, ekyatuumiddwa Census Night. Kyategeerekese nga bano baatomeddwa mmotoka ekika kya Canter etaategeerekese nnamba  bwe yayambalaganye ne lukululana  okukakana nga ebalubye ku mabbali g’ekubo gye baabadde batambulira […]

error: Content is protected !!