Musa Muwanika yategeezezza nti Kibuule yali yabamanyiiza okubalambulangako nga ne bwe babeera n’eby’etaago nga bamukubirako oba okugenda ewuwe ne bamubimutegeeza kyokka ng’emyaka gino okuva lwe baamuggya mu palamenti, omubaka eyalondebwa tabasuuliranga ku mwoyo kugendako gye bali kufuna birowoozo byabwe. Eyaliko omubaka wa palamenti owa Mukono North, Ronald Kibuule abantu bamulaze nti ebbanga ery’emyaka egigenda mw’etaano […]